Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo Birudaadi Omusukusi n’ayanukula n’agamba nti, |
| 2 |
| “Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo? Muddeemu amagezi, tulyoke twogere. |
| 3 |
| Lwaki tutwalibwa ng’ente era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe? |
| 4 |
| Ggwe eyeyuzayuza olw’obusungu, abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo? |
| 5 |
| “Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde, era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka. |
| 6 |
| Ekitangaala kivudde mu weema ye; n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde. |
| 7 |
| Amaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi, era enkwe ze, ze zimusuula. |
| 8 |
| Eky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba era n’atangatanga mu butimba. |
| 9 |
| Omutego gumukwata ekisinziiro; akamasu ne kamunyweeza. |
| 10 |
| Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka; akatego kamulindirira mu kkubo lye. |
| 11 |
| Entiisa emukanga enjuuyi zonna era n’emugoba kigere ku kigere. |
| 12 |
| Emitawaana gimwesunga; ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe. |
| 13 |
| Kirya ebitundu by’olususu lwe; omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere. |
| 14 |
| Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa. |
| 15 |
| Omuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye; ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera. |
| 16 |
| Emirandira gye gikala wansi, n’amatabi ge gakala waggulu. |
| 17 |
| Ekijjukizo kye kibula ku nsi; talina linnya mu nsi. |
| 18 |
| Agobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza n’aggyibwa mu nsi. |
| 19 |
| Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be, newaakubadde ekifo mwabeera. |
| 20 |
| Abantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako; n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa. |
| 21 |
| Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi; bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/job/018.mp3
42
18