|
| 1 |
|
| Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Mulituusa wa okweraliikiriza emmeeme yange, Ne mummeayamenya n'ebigambo? |
|
| 3 |
|
| Mwakanvumira emirundi kkumi: Temukwatiddwa nsonyi okunzitoowerera. |
|
| 4 |
|
| N'okukyama newakubadde nga nkyamye, Okukyama kwange kubeera nange mwene. |
|
| 5 |
|
| Okwegulumiza oba nga muneegulumiza eri nze, Ne mundeetako ekivume kyange: |
|
| 6 |
|
| Mutegeere nno nga Katonda ansudde mu nsonga yange, Era anzingizizza n'ekitimba kye. |
|
| 7 |
|
| Laba, njogerera waggulu olw'okujoogebwa, naye ne siwulirwa: Ndaagana nfune obuyambi, naye siraba antaasa. |
|
| 8 |
|
| Azibye ekkubo lyange n'okuyinza ne ssiyinza kuyitamu, Era atadde ekizikiza mu makubo gange. |
|
| 9 |
|
| Anziyeeko ekitiibwa kyange, Era aggye engule ku mutwe gwange. |
|
| 10 |
|
| Ammenyemenye enjuyi zonna, era ŋŋenze: N'essuubi lyange alisimbudde ng'omuti. |
|
| 11 |
|
| Era abuubuusizza obusungu bwe ku nze, Era ampita omu ku balabe be gy'ali. |
|
| 12 |
|
| Eggye lye litabaalira wamu, ne batuuma ekkubo lyabwe ku nze, Ne basiisira okuzingiza eweema yange. |
|
| 13 |
|
| Baganda bange abantadde wala, N'abo be mmanyi bafuukidde ddala nga be ssimanyi: |
|
| 14 |
|
| Ab'ekika kyange baweddewo, Ne mikwano gyange ennyo banneerabidde. |
|
| 15 |
|
| Abo ababeera mu nnyumba yange n'abazaana bange bampita mugenyi: Ndi munnaggwanga mu maaso gaabwe. |
|
| 16 |
|
| Mpita omuddu wange n'atanjitaba, Newakubadde nga mmwegayirira n'akamwa kange. |
|
| 17 |
|
| Omukka gwange mukazi wange tagumanyi, N'okwegayirira kwange abaana b'enda ya mmange tebakumanyi: |
|
| 18 |
|
| Era n'abaana abato bannyooma; Bwe nnyimuka banjogerako obubi. |
|
| 19 |
|
| Emikwano gyange bonna be nteesa nabo bantamiddwa: N'abo be nnayagalanga bakyuse okuba abalabe bange. |
|
| 20 |
|
| Eggumba lyange lyegatta n'eddiba lyange n'omubiri gwange, Era mponye n'eddiba ly'okumanayo gange. |
|
| 21 |
|
| Munsaasire, munsaasire, si mmwe mikwano gyange; Kubanga omukono gwa Katonda gunkomyeko. |
|
| 22 |
|
| Kiki ekibanjigganyisa nga Katonda, So n'omubiri gwange tegubamala? |
|
| 23 |
|
| Singa nno ebigambo byange biwandiikiddwa! Singa biwandiikiddwa mu kitabo! |
|
| 24 |
|
| Singa byoleddwa ku lwazi N'ekkalaamu ey'ekyuma n'ekisasi okumala emirembe gyonna! |
|
| 25 |
|
| Naye mmanyi nga Omununuzi wange aba mulamu, Era ku nkomerero ng'aliyimirira ku nsi: |
|
| 26 |
|
| Era eddiba ly'omubiri gwange bwe lirimala okuzikirizibwa bwe lityo, Naye mu mubiri gwange ndiraba Katonda: |
|
| 27 |
|
| Gwe ndiraba nze mwene, N'amaaso gange galimutunuulira so si mulala. Emmeeme yange emaliddwawo munda yange. |
|
| 28 |
|
| Bwe munaayogera nti Nga tunaamuyigganya so! Kubanga ekikolo ky'ekigambo kirabise mu nze; |
|
| 29 |
|
| Mutyenga ekitala: Kubanga obusungu buleeta okubonereza kw'ekitala. Mulyoke mumanye nga waliwo okusala omusango. |
|
|
|
|