Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Awo Yobu n’addamu nti: |
| 2 |
| “Mulikomya ddi okunnyigiriza ne mummenya n’ebigambo? |
| 3 |
| Emirundi kkumi nga munvuma; temukwatiddwa nsonyi kunnumba. |
| 4 |
| Bwe kiba nga kituufu nti nawaba, obukyamu bwange, bwange nzekka. |
| 5 |
| Bwe muba munneegulumiririzaako ne mukozesa obulumi bwange okunfeebya, |
| 6 |
| mumanye nga Katonda ankoze bubi era anzingizza mu kitimba kye. |
| 7 |
| “Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu; ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa. |
| 8 |
| Azibye ekkubo lyange sisobola kuyita; amakubo gange agalese mu kizikiza. |
| 9 |
| Anziggyeeko ekitiibwa kyange n’anziggyako n’engule ku mutwe gwange. |
| 10 |
| Anjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu, asigula essuubi lyange ng’omuti. |
| 11 |
| Obusungu bwe bumbubuukirako; ambala ng’omu ku balabe be. |
| 12 |
| Amaggye ge galumba n’amaanyi; ganzimbako enkomera ne gagumba okwetooloola weema yange. |
| 13 |
| “Anziggyeeko baganda bange; abo bwe twali tumanyiganye banviiriddeko ddala. |
| 14 |
| Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala, mikwano gyange ginneerabidde. |
| 15 |
| Abagenyi bange n’abaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi, ne bandaba nga munnagwanga. |
| 16 |
| Mpita omuddu wange naye tawulira, wadde nga mwegayirira n’akamwa kange. |
| 17 |
| Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange; nakyayibwa baganda bange bennyini. |
| 18 |
| N’obulenzi obuto bunsekerera; buli lwe bundaba bunvuma. |
| 19 |
| Mikwano gyange gyonna enfirabulago gya nkyawa; abo be nnayagalanga banneefuukira. |
| 20 |
| Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba: nsigazzaawo bibuno byokka. |
| 21 |
| “Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa, kubanga omukono gwa Katonda gunkubye. |
| 22 |
| Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga? Omubiri gwe mufunye tegumala? |
| 23 |
| “Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa, Singa byawandiikibwa ku muzingo, bandiguwadde ani? |
| 24 |
| Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati, oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe n’emirembe! |
| 25 |
| Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu, era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi. |
| 26 |
| Era ng’olususu lwange bwe luweddewo, kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda; |
| 27 |
| nze mwene ndimulaba, n’amaaso gange, Nze, so si mulala. Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze! |
| 28 |
| “Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya, kubanga ensibuko y’emitawaana eri mu ye;’ |
| 29 |
| nammwe bennyini musaana mutye ekitala. Kubanga obusungu buleeta okubonereza okw’ekitala, olwo mulyoke mumanye ng’eriyo okusalirwa omusango.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/job/019.mp3
42
19