|
| 1 |
|
| Awo Yobu n'addamu n'agamba nti: |
|
| 2 |
|
| Mulituusa wa okunkomekereza, N'okunneeraliikiriza n'ebigambo? |
|
| 3 |
|
| Mwakanvumira emirundi kkumi, Temukwatiddwa nsonyi kumpisa mutyo? |
|
| 4 |
|
| Era ne bwe kyandibadde nti nnayonoona, Okwonoona kwandibadde ku nze nzekka. |
|
| 5 |
|
| Ne bwe munanneegulumirizaako, Nga mufuula obuyinike bwange ekibi, |
|
| 6 |
|
| Mutegeere nno nga Katonda kino yakintusizzaako, Era ye yanzingiziza. |
|
| 7 |
|
| Laba, njogerera waggulu olw'okujoogebwa, naye tewali ampulira, Ndaagana nfune obuyambi, naye siraba antaasa. |
|
| 8 |
|
| Katonda azibye ekkubo lyange, siyinza kuliyitamu. Era amakubo gange agataddemu ekizikiza. |
|
| 9 |
|
| Anzigyeko ekitiibwa kyange, Era aggye engule ku mutwe gwange. |
|
| 10 |
|
| Ammenyemenye enjuyi zonna, era ŋŋenze: N'essuubi lyange alisimbudde ng'omuti. |
|
| 11 |
|
| Era abuubuusizza obusungu bwe ku nze, Era ampisa omu ku balabe be |
|
| 12 |
|
| Amagye ge gakungaana wamu, ne geteekateeka okunnumba, Ne gasiisira okuzingiza ennyumba yange. |
|
| 13 |
|
| Katonda anjawukanyiza ne baganda bange, N'abo be mmanyi bafuukidde ddala nga be ssimanyi. |
|
| 14 |
|
| Ab'ekika kyange baneesambye, Ne mikwano gyange ennyo banjabulidde. |
|
| 15 |
|
| Abo be nakyazanga mu nnyumba yange n'abazaana bange banneerabidde Bandaba nga munnaggwanga. |
|
| 16 |
|
| Mpita omuddu wange n'atanjitaba, Ne bwe mmwegayirira tanfaako. |
|
| 17 |
|
| Mukyala wange anneesamba. Abaana ba mmange tebansemberera. |
|
| 18 |
|
| N'abaana abato banyooma. Bwe nsitukawo nga banjogerako bubi. |
|
| 19 |
|
| Emikwano gyange ennyo nabo bantamiddwa, N'abo be nnayagalanga ennyo baneefuulidde. |
|
| 20 |
|
| Nsigadde magumba meereere, Era mponedde watono obutafa. |
|
| 21 |
|
| Munsaasire, munsaasire, mmwe mikwano gyange, Kubanga omukono gwa Katonda gunyigiriza. |
|
| 22 |
|
| Lwaki munjigganya nga Katonda bw'anjigganyizza? Kye mbonyeebonye tekibamala? |
|
| 23 |
|
| Singa nno ebigambo byange biwandiikiddwa! Singa biwandiikiddwa mu kitabo! |
|
| 24 |
|
| Singa byoleddwa ku lwazi n'ekkalaamu ey'ekyuma, N'ekisasi bibeerewo emirembe gyonna. |
|
| 25 |
|
| Naye mmanyi ng'Omununuzi wange mulamu, Era ye yalisalawo eky'enkomerero ku nsi: |
|
| 26 |
|
| Era eddiba ly'omubiri gwange bwe lirimala okuzikirizibwa bwe lityo, Naye mu mubiri gwange ndiraba Katonda, |
|
| 27 |
|
| Gwe ndiraba nze nzennyini, N'amaaso gange galimutunuulira so si mulala. Omutima gwange gweralikirira. |
|
| 28 |
|
| Bwe munaagamba nti, “Katumuyigganye, Kubanga ye yavaako okumuyigganya.” |
|
| 29 |
|
| Mutyenga ekitala: Kubanga obusungu buleeta okubonereza n'ekitala, Mulyoke mumanye nga waliwo okusala omusango. |
|
|
|
|