|
| 1 |
|
| Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Ebirowoozo byange kyebiva binziramu, Olw'okwanguyiriza okuli mu nze. |
|
| 3 |
|
| Mpulidde okunenya okunswaza, Omwoyo ogw'okutegeera kwange ne gunziramu. |
|
| 4 |
|
| Ekyo tokimanyi obw'edda, Omuntu kasookedde ateekebwa ku ttaka, |
|
| 5 |
|
| Ng'okuwangula kw'ababi kwa kuggwaawo mangu, Era ng'essanyu ly'abatamanyi Katonda lya kiseera buseera? |
|
| 6 |
|
| Obukulu bwe newakubadde nga bulinnya okutuuka mu ggulu, N'omutwe gwe gutuuka mu bire; |
|
| 7 |
|
| Naye anaabulanga emirembe gyonna ng'empitambi ye ye: Abo abaamulabanga banaayogeranga nti Ali ludda wa? |
|
| 8 |
|
| Anaavangawo ng'ekirooto, so taalabikenga: Weewaawo, anaagoberwanga ddala ng'okwolesebwa okw'ekiro. |
|
| 9 |
|
| Eriiso eryamulabanga teriimulabenga nate; So n'ekifo kye tekiimutunuulirenga nate. |
|
| 10 |
|
| Abaana be baneegonzanga eri abaavu, N'emikono gye ginaakomyangawo obugagga bwe. |
|
| 11 |
|
| Amagumba ge gajjudde obuvubuka bwe, Naye bunaagalamiranga naye mu nfuufu. |
|
| 12 |
|
| Obubi newakubadde nga bumuwoomera mu kamwa ke, Newakubadde ng'abukweka wansi w'olulimi lwe; |
|
| 13 |
|
| Newakubadde ng'abusonyiwa n'ataganya kubuta, Naye ng'akyaguguba nabwo mu kamwa ke; |
|
| 14 |
|
| Naye emmere ye mu byenda bye efuuse, Bwe busagwa bwe mbalasaasa munda ye. |
|
| 15 |
|
| Yamira obugagga, era anaabusesemanga nate: Katonda anaabuggyanga mu lubuto lwe. |
|
| 16 |
|
| Anaanuunanga obusagwa bw'embalasaasa: Olulimi lw'omusota lunaamuttanga. |
|
| 17 |
|
| Taatunuulirenga migga, Emigga egikulukuta egy'omubisi gw'enjuki n'omuzigo. |
|
| 18 |
|
| Kye yateganira anaakizzanga, so taakimirenga; So taasanyukenga ng'ebintu bwe biri by'afunye. |
|
| 19 |
|
| Kubanga yajooga abaavu n'abaleka; Yaggyawo ennyumba olw'amaanyi so taagizimbenga. |
|
| 20 |
|
| Kubanga teyamanya kutereera munda ye, Taawonyenga kintu ku ebyo by'asanyukira. |
|
| 21 |
|
| Tewasigala kintu ky'atalya; Omukisa gwe kyegunaavanga gulema okuba ogw'olubeerera. |
|
| 22 |
|
| Mu lufulube lw'ebintu bye ebisukkirira anaalabanga ennaku: Omukono gwa buli muntu aliko obuyinike gunaamutuukangako. |
|
| 23 |
|
| Bw'aba ng'anaatera okukkusa olubuto lwe, Katonda anaamusuulangako ekiruyi kye ekingi, Era anaakitonnyesanga ku ye ng'alya. |
|
| 24 |
|
| Anaddukanga ekyokulwanyisa eky'ekyuma, N'omutego ogw'ekikomo gunaamufumitanga. |
|
| 25 |
|
| Aguggyamu ne guva mu mubiri gwe: Weewaawo, omumwa gwagwo ogumasamasa guva mu mususa gwe; Ebitiisa bimuliko. |
|
| 26 |
|
| Ekizikiza kyonna kyaterekerwa ebibye eby'obugagga: Omuliro ogutakumibwa bantu gunaamwokyanga; Gunaamalangawo ebyo ebisigadde mu weema ye. |
|
| 27 |
|
| Eggulu linaabikkulanga ku butali butuukirivu bwe, N'ensi eneemugolokokerangako. |
|
| 28 |
|
| Ekyengera eky'omu nnyumba ye kinaavangawo, Ebintu bye binaabuliranga ku lunaku olw'obusungu bwe. |
|
| 29 |
|
| Ogwo gwe mugabo gw'omuntu omubi oguva eri Katonda, N'obusika Katonda bwe yamuteekerawo. |
|
|
: |
| 1 | | 2 | | 3 | | 4 | | 5 | | 6 | | 7 | | 8 | | 9 | | 10 | | 11 | | 12 | | 13 | | 14 | | 15 | | 16 | | 17 | | 18 | | 19 | | 20 | | 21 | | 22 | | 23 | | 24 | | 25 | | 26 | | 27 | | 28 | | 29 | 1
1
1 |
|
|---|
|
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/job/020.mp3
42
20