|
| 1 |
|
| Awo Zafari Omunaamati n'addamu ng'agamba nti: |
|
| 2 |
|
| “Olw'ebigambo by'oyogedde ebirowoozo byange bimpalirizza okwanguwa okubaako kye ŋŋamba. |
|
| 3 |
|
| Mpulidde ebinnenya ebivuma, omutima ne gumpabula kye nnina okukwanukula. |
|
| 4 |
|
| “Ggwe tokimanyi nti okuva ddi bukya muntu ateekebwa ku nsi |
|
| 5 |
|
| Essanyu ly'omubi liba limpi? N'atassaamu Katonda kitiibwa asanyukako kaseera buseera? |
|
| 6 |
|
| Ne bw'akula okuwagguuka okutuuka eyo ku ggulu ng'omutwe gwe gutuuka ne ku bire, |
|
| 7 |
|
| alifuuyibwa embuyaga n'emumalawo ng'enfuufu. Abo ababadde bamulaba balyebuuza gye yalaga. |
|
| 8 |
|
| Alibulawo nga kirooto nga kulabikirwa kwa mu kiro, n'ataddayo kulabikako. |
|
| 9 |
|
| Taliddayo kukubikako kimunye; Alibulawo mu kifo we yabeeranga. |
|
| 10 |
|
| “Abaana be baliddiza abaavu obugagga bwe yali ababbyeko. |
|
| 11 |
|
| Eryanyi ly'abadde alina mu buvubuka, aligalamira nalyo mu nfuufu. |
|
| 12 |
|
| Wadde ng'ekibi kimuwoomera nga sukaali mu kamwa ke, n'akikwekako ne wansi w'olulimi lwe, |
|
| 13 |
|
| n'akisigaza mu kamwa agire ng'akyanuuna, |
|
| 14 |
|
| naye emmere ye emukaayirira mu lubuto lwe, n'efuuka obusagwa bw'omusota mu ye. |
|
| 15 |
|
| Asesema obugagga bwe yamira, Katonda n'abumuggya mu lubuto. |
|
| 16 |
|
| Ky'anuuna kiri nga butwa: kimutta nga bwe yandittiddwa essota ery'obusagwa. |
|
| 17 |
|
| Taliwangaala kulaba ku birungi Katonda by'agaba, ebiri ng'emigga egikulukuta omubisi gw'enjuki n'amata. |
|
| 18 |
|
| Aliwaayo bye yateganira byonna, talibirya kumukka mu lubuto. N'amagoba g'afunye taligeesiimiramu. |
|
| 19 |
|
| Kubanga yayisa bubi abaavu, n'abalekerera. Yanyaga amayumba g'ataazimba. |
|
| 20 |
|
| Olw'omululu gwe ogutamatira, taasigazengawo na kimu ku ebyo by'ayagala. |
|
| 21 |
|
| Tewali ky'alya n'alekawo. N'okubeera obulungi kyekuliva kumuggwaako. |
|
| 22 |
|
| W'alibeerera n'ebingi ebivuluuja w'alirabira ennaku n'adooba, atuukibweko buli kizibu. |
|
| 23 |
|
| Ng'anaatera okulya okwekkutira Katonda anaamuyiwangako ekiruyi kye ekingi, ne kimufuukira emmere ye. |
|
| 24 |
|
| Alidduka ekyokulwanyisa eky'ekyuma, n'afumitibwa akasaale ak'ekikomo. |
|
| 25 |
|
| Kamuyitamu ne kafuluma: omumwa gwako ogumasamasa, ne guyita mu kalulwe ke. Alikwatibwa entiisa. |
|
| 26 |
|
| “Ebyobugagga bye bitokomoka. Omuliro ogutakumwa bantu gulimwokya, ne gusaanyaawo ne by'asigazzaawo mu nnyumba. |
|
| 27 |
|
| Eggulu liryerula ebibi bye, n'ensi n'emulumiriza. |
|
| 28 |
|
| Eby'omu nnyumba ye birinyagibwa, ne bitwalibwa ku olwo Katonda lw'alisunguwala. |
|
| 29 |
|
| Ogwo gwe mugabo Katonda gwe yawa omwonoonyi. Bwe busika bwe yamuteerawo.” |
|
|
: |
| 1 | | 2 | | 3 | | 4 | | 5 | | 6 | | 7 | | 8 | | 9 | | 10 | | 11 | | 12 | | 13 | | 14 | | 15 | | 16 | | 17 | | 18 | | 19 | | 20 | | 21 | | 22 | | 23 | | 24 | | 25 | | 26 | | 27 | | 28 | | 29 | 1
1
1 |
|
|---|
|
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/job/020.mp3
42
20