|
| 1 |
|
| Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'agamba nti: |
|
| 2 |
|
| “Olw'ebigambo by'oyogedde ebirowoozo byange, Bimpaliriza okwanguwa okubaako kye njogera. |
|
| 3 |
|
| By'oyogedde binyiizizza, Ne mpulira nga nteekwabuteekwa okukwanukula. |
|
| 4 |
|
| Ggwe tokimanyi okuva ddi, Bukya omuntu ateekebwa ku nsi, |
|
| 5 |
|
| Essanyu ly'ababi liba limpi? Era n'essanyu lya bo abatatya Katonda lya kaseera buseera? |
|
| 6 |
|
| Ne bw'akula n'aba muwagguufu okutuuka N'omutwe gwe nga gutuuka ku bire, |
|
| 7 |
|
| Naye alifuuyibwa embuyaga n'emumalawo ng'enfuufu. Abo abaamulabanga balyebuuza gye yalaga. |
|
| 8 |
|
| Alibulawo ng'ekirooto, n'atabeerawo. Oba alibulirawo ddala ng'okwolesebwa okw'ekiro. |
|
| 9 |
|
| Taliddayo kulabibwako, Nga n'ekifo we yabeeranga takyaliwo. |
|
| 10 |
|
| Abaana be baliddiza abaavu, Ebintu bye yali ababbyeko. |
|
| 11 |
|
| Newakubadde nga akyalina amaanyi ag'ekivubuka, Naye aligalamira nago mu nfuufu. |
|
| 12 |
|
| Ekibi newakubadde nga kimuwoomera mu kamwa ke, N'akikwekako ne wansi w'olulimi lwe, |
|
| 13 |
|
| N'akisigaza mu kamwa ke, Asigale ng'akyakinuuna, |
|
| 14 |
|
| Naye emmere ye mu lubuto lwe efuuka, Ng'obusagwa bw'omusota munda ye. |
|
| 15 |
|
| Obugagga bwe yamira anaabusesemanga nate: Katonda anaabuggyanga mu lubuto lwe. |
|
| 16 |
|
| Ky'anuuna kiri nga butwa: Kimutta nga busagwa bwa musota. |
|
| 17 |
|
| Taliwangaala kulaba ku birungi Katonda by'agaba, Ebiringa emigga egikulukuta egy'omubisi gw'enjuki n'amata. |
|
| 18 |
|
| Kye yateganira alikiwaayo kyonna, talikirya, Era taasanyukirenga mu bintu bye yafuna. |
|
| 19 |
|
| Kubanga yayisa bubi abaavu n'atabafaako, Yanyaga amayumba g'atazimba. |
|
| 20 |
|
| Kubanga omululu gwe tegwamuganya kumatira, Talisigaza kintu ku ebyo by'ayagala. |
|
| 21 |
|
| Bwalya talina kyasigazawo, Omukisa gwe kyegunaavanga gulema okuba ogw'olubeerera. |
|
| 22 |
|
| W'alibeerera n'ebingi ebivuluuja w'alirabira ennaku n'adooba, Atuukibweko buli kizibu. |
|
| 23 |
|
| Bw'aba ng'anaatera okukkusa olubuto lwe, Katonda anaamusuulangako ekiruyi kye ekingi, Ne kimufuukira emmere ye. |
|
| 24 |
|
| Alidduka eky'okulwanyisa eky'ekyuma, N'afumitibwa akasaale ak'ekikomo. |
|
| 25 |
|
| Kamuyitamu ne kafuluma: Omumwa gwako ogumasamasa, ne guyita mu kalulwe ke. Alikwatibwa ebitiisa. |
|
| 26 |
|
| Eby'obugagga bye biritokomoka, Omuliro ogutakumibwa bantu gulimwokya, Ne gusaanyaawo ne by'asigazzaawo mu nnyumba. |
|
| 27 |
|
| Eggulu liryerula ebibi bye, N'ensi n'emulumiriza. |
|
| 28 |
|
| Ebintu eby'omu nnyumba ye birinyagibwa Ku lunaku Katonda lw'alisunguwala. |
|
| 29 |
|
| Ogwo gwe mugabo gw'omuntu omubi oguva eri Katonda, Bwe busika Katonda bwe yamuteerawo.” |
|
|
|
|