|
| 1 |
|
| Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Muwulire nnyo okwogera kwange; Era bino bibeere bya kubasanyusa. |
|
| 3 |
|
| Munzikirize, nange naayogera; Kale nga mmaze okwogera, mweyongere okuduula. |
|
| 4 |
|
| Nze neemulugunya eri abantu? Era ekyandindobedde okwesunaasuna kiki? |
|
| 5 |
|
| Munziseeko omwoyo, mwewuunye, Era muteeke omukono gwammwe ku kamwa kammwe. |
|
| 6 |
|
| Bwe njijukira obujjukizi neeraliikirira, Okwesisiwala ne kukwata omubiri gwange. |
|
| 7 |
|
| Ababi babeerera ki abalamu, Ne bakaddiwa ne baba ba maanyi mu buyinza? |
|
| 8 |
|
| Ezzadde lyabwe linywera gye bali bo nga balaba, N'enda yaabwe mu maaso gaabwe. |
|
| 9 |
|
| Ennyumba zaabwe ziba mirembe awatali kutya, So n'omuggo gwa Katonda tegubabaako, |
|
| 10 |
|
| Ente yaabwe ennume ezaala n'eteddirira; Ente yaabwe enkazi ezaala n'etesowola mwana gwayo. |
|
| 11 |
|
| Basindika abaana baabwe abato ng'ekisibo, N'abaana baabwe bazina. |
|
| 12 |
|
| Bayimbira ku bitaasa n'ennanga, Ne basanyukira eddoboozi ly'omulere. |
|
| 13 |
|
| Bamala ennaku zaabwe nga balabye omukisa, Mu kaseera ne bakka mu magombe. |
|
| 14 |
|
| Era naye ne bagamba Katonda nti Tuveeko; Kubanga tetwegomba kumanya makubo go. |
|
| 15 |
|
| Omuyinza w'ebintu byonna kye ki, ffe tumuweereze? Era bwe tunaamusabanga kinaatugasanga kitya? |
|
| 16 |
|
| Laba, omukisa gwabwe teguli mu mukono gwabwe: Okuteesa kw'ababi kundi wala. |
|
| 17 |
|
| Ettabaaza y'ababi ezikizibwa emirundi emeka? N'obuyinike bwabwe bubatuukako emirundi emeka? Katonda agaba ennaku mu busungu bwe emirundi emeka? |
|
| 18 |
|
| Baba ng'ebisasiro ebitwalibwa n'empewo, Era ng'ebisusunku embuyaga bye zitwala emirundi emeka? |
|
| 19 |
|
| Mwogera nti Katonda aterekera abaana be obutali butuukirivu bwe. Abasasule ye yennyini abumanye. |
|
| 20 |
|
| Amaaso ge galabe okuzikirira kwe ye, Era anywe ku busungu bw'Omuyinza w'ebintu byonna. |
|
| 21 |
|
| Kubanga asanyukira atya ennyumba ye emuddirira, Omuwendo gw'emyezi gye nga gukutuse wakati? |
|
| 22 |
|
| Waliwo anaayigirizanga Katonda okumanya? Kubanga asalira abo omusango abagulumizibwa. |
|
| 23 |
|
| Wabaawo omu afa ng'alina amaanyi ge gonna, Ng'aweereddeweeredde ddala ng'ateredde: |
|
| 24 |
|
| Amabeere ge gajjudde amata, N'obusomyo obw'amagumba ge nga bubisi. |
|
| 25 |
|
| N'omulala afa omwoyo gwe nga gumubalagala, So taleganga ku birungi. |
|
| 26 |
|
| Bombi bagalamira mu nfuufu, Envunyu n'ebabikkako. |
|
| 27 |
|
| Laba, mmanyi ebirowoozo byammwe, N'enkwe ze munsalira obubi. |
|
| 28 |
|
| Kubanga mwogera nti Ennyumba y'omukungu eri ludda wa? Era nti Eweema ababi mwe babeera eri ludda wa? |
|
| 29 |
|
| Temwababuuza abatambulira mu kkubo? Era temumanyi bubonero bwabwe? |
|
| 30 |
|
| Ng'omuntu omubi aterekerwa olunaku olw'okulabirako ennaku? Nga batwalibwa eri olunaku olw'obusungu? |
|
| 31 |
|
| Ani anaabuuliranga ekkubo lye mu maaso ge? Era ani anaamusasulanga bye yakola? |
|
| 32 |
|
| Naye anaatwalibwanga mu ntaana, Era anaakuumanga amalaalo. |
|
| 33 |
|
| Amafunfugu ag'omu kiwonvu ganaamuwoomeranga, N'abantu bonna banaawalulwanga ennyuma we, Nga bwe baamukulembera abatabalika. |
|
| 34 |
|
| Kale nno munsanyusiza mutya obwereere, Kubanga mu kuddamu kwammwe musigaddemu obulimba busa? |
|
|
: |
| 1 | | 2 | | 3 | | 4 | | 5 | | 6 | | 7 | | 8 | | 9 | | 10 | | 11 | | 12 | | 13 | | 14 | | 15 | | 16 | | 17 | | 18 | | 19 | | 20 | | 21 | | 22 | | 23 | | 24 | | 25 | | 26 | | 27 | | 28 | | 29 | | 30 | | 31 | | 32 | | 33 | | 34 | 1
1
1 |
|
|---|
|
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/job/021.mp3
42
21