|
| 1 |
|
| Awo Yobu n'addamu n'agamba nti: |
|
| 2 |
|
| “Muwulirize n'obwegendereza ebigambo byange, Ekyo kye kinaampa emirembe. |
|
| 3 |
|
| Munzikirize, njogere, Kale nga mmaze okwogera, munaayongera ne muduula. |
|
| 4 |
|
| Nze sinnemulugunyiza abantu. Kale lwaki siba atali mugumiikiriza? |
|
| 5 |
|
| Muntunuulire, mwewuunye, Era mukwate ne ku mumwa! |
|
| 6 |
|
| Bwe ndowooza ku kyantuukako, nneekanga, Nneesisiwala nzenna. |
|
| 7 |
|
| Lwaki Katonda aleka ababi okuwangaala, Ne bakaddiwa nga ba maanyi? |
|
| 8 |
|
| Bafuna abaana n'abazzukulu, Ne babeerawo okulaba bwe bakula. |
|
| 9 |
|
| Baba mu mirembe mu maka gaabwe nga tebalina kibatiisa, Ne Katonda tababonereza n'akatono. |
|
| 10 |
|
| Ente zaabwe ziwaka, Ne zizaala bulungi nga tewali esowodde. |
|
| 11 |
|
| Bazaala omuyeye gw'abaana, Ne baligita ng'obuliga. |
|
| 12 |
|
| Bayimbira ku bitaasa n'ennanga, Ne banyumirwa eddoboozi ly'omulere. |
|
| 13 |
|
| Bafuna ebirungi mu bulamu bwabwe, Era bafiira mu mirembe. |
|
| 14 |
|
| Era naye ne bagamba Katonda nti: Tuveeko, Kubanga tetwagala kumanya makubo go.” |
|
| 15 |
|
| “Ye ani Omuyinza w'ebintu byonna tumuweerezenga? Kitugasa ki okumusabanga? |
|
| 16 |
|
| Bo bagamba nti bye bafuna babifuna lwa maanyi gaabwe. Okuteesa kw'ababi sikukkiriza. |
|
| 17 |
|
| Ettaala y'ababi ddi lwe zikizibwa? N'obuyinike bubatuukako ddi? Era ddi Katonda lwe yali ababonereza mu busungu? |
|
| 18 |
|
| Ne baba ng'ebisasiro ebitwalibwa n'empewo, Oba ng'ebisusunku ebitwalibwa embuyaga? |
|
| 19 |
|
| Mugamba nti, ‘Katonda abonereza abaana olw'ebibi bya bakitaabwe.’ Naye bakimanye nti Katonda ababonereza lwa bibi byabwe bo bennyini. |
|
| 20 |
|
| Ababi balabe okuzikirira kwabwe bo, Banywe ku busungu bw'Omuyinza w'ebintu byonna. |
|
| 21 |
|
| Kubanga bwe bamala okufa, Bafaayo kw'ebyo ebituuka ku b'omu maka gaabwe? |
|
| 22 |
|
| Omuntu ayinza okuyigiriza Katonda? Asalira omusango n'abo abali mu bifo ebya waggulu? |
|
| 23 |
|
| Wabaawo omu afa ng'ali bulungi, Ng'ateredde ng'alina emirembe. |
|
| 24 |
|
| ng'omubiri gwe munene, munyirivu, Ng'alabikira ddala nga muvubuka. |
|
| 25 |
|
| N'omulala afa mwennyamivu, Nga tafunangako ssanyu. |
|
| 26 |
|
| Bombi bagalamira mu nfuufu, Ne babikkibwako envunyu. |
|
| 27 |
|
| Mmanyi ebirowoozo byammwe, N'akabi ke muteesa okunkolako. |
|
| 28 |
|
| Kubanga mubuuza nti, ‘Ennyumba y'omukungu eri ludda wa? Ennyumba y'abaakolanga ebibi eri ludda wa?’ |
|
| 29 |
|
| Temwababuuza abatambula engendo? Temuwuliranga mawulire ge badda nago, |
|
| 30 |
|
| Nti akabi lwe kagwawo omuntu omubi y'awonawo? Ne Katonda lw'asunguwala, era akola ebibi gwataliza? |
|
| 31 |
|
| Ani ayinza okwesimba mu maaso ge amulumirize omusango? Era ani anaamusasula nga bwe yakola? |
|
| 32 |
|
| Bw'alitwalibwa mu ntaana, Amalaalo ge bagakuuma. |
|
| 33 |
|
| Abantu bangi abamuwerekera okumuziika, Abamu bakulemberamu, n'abalala ne bavaako emabega, Ne bamuyiwako bulungi ettaka. |
|
| 34 |
|
| Kale nno munambudaabuda mutya nga mwogera ebigambo ebitaliimu? Kubanga bye munziramu byonna bya bulimba.” |
|
|
|
|