|
| 1 |
|
| Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Omuntu ayinza okugasa Katonda? Mazima ow'amagezi yeegasa yekka. |
|
| 3 |
|
| Kiriko bwe kisanyusa Omuyinza w'ebintu byonna ggwe okubeera omutuukirivu? Oba kimugasa ggwe okutuukiriza amakubo go? |
|
| 4 |
|
| Kubanga omutya kyava akunenya, Kyava asala omusango gwo? |
|
| 5 |
|
| Obubi bwo si bungi? So n'obutali butuukirivu bwo tebuliiko gye bukoma. |
|
| 6 |
|
| Kubanga waggya ku muganda wo emisingo egy'obwereere, N'oyambula abaali obwereere ebyambalo byabwe. |
|
| 7 |
|
| Tonywesanga mazzi omukoowu, Era wamma omuyala emmere. |
|
| 8 |
|
| Naye ow'amaanyi ye yalya ensi; N'ow'ekitiibwa ye yagibeeramu. |
|
| 9 |
|
| Wasindika bannammwandu nga tebalina kintu, N'emikono gy'abatalina kitaabwe gyamenyeka. |
|
| 10 |
|
| Obukunizo kyebuva bukwetooloola, N'entiisa gy'otomanyiridde ekweraliikiriza, |
|
| 11 |
|
| Oba ekizikiza n'otoyinza kulaba, Amazzi amangi ne gakubikkako. |
|
| 12 |
|
| Katonda tali mu ggulu awagulumizibwa? Era laba emmunyeenye bwe zenkana obugulumivu! |
|
| 13 |
|
| Naawe oyogera nti Katonda amanyi ki? Ayinza okusala omusango ng'ayima mu kizikiza ekikutte? |
|
| 14 |
|
| Ebire ebiziyivu bimubikkako n'okulaba talaba; Era atambulira mu kwekulungirira kw'eggulu. |
|
| 15 |
|
| Oyagala okukwata ekkubo ery'edda Abantu ababi lye baalinnyirangamu? |
|
| 16 |
|
| Abaakwakulibwa entuuko zaabwe nga tezinnabaawo, Omusingi gwabwe ne gufukibwa ng'omugga: |
|
| 17 |
|
| Abaagambanga Katonda nti Tuveeko: Era nti Omuyinza w'ebintu byonna ayinza kutukolera ki? |
|
| 18 |
|
| Naye yajjuza ennyumba zaabwe ebirungi: Naye okuteesa kw'ababi kundi wala. |
|
| 19 |
|
| Abatuukirivu bakiraba ne basanyuka; N'ataliiko musango abasekerera nnyo: |
|
| 20 |
|
| Ng'ayogera nti Mazima abo abaatugolokokerako bamaliddwawo, N'abo abafisseewo omuliro gubookezza. |
|
| 21 |
|
| Yiga nno obeere n'emirembe: Bw'otyo bw'onoobanga n'ebirungi. |
|
| 22 |
|
| Nkwegayiridde, kkiriza amateeka eri akamwa ke, Era tereka ebigambo bye mu mutima gwo. |
|
| 23 |
|
| Bw'onookomangawo eri Omuyinza w'ebintu byonna, onoozimbibwanga; Bw'onoggyangawo obutali butuukirivu okuba ewala n'eweema zo. |
|
| 24 |
|
| N'oteeka ebibyo eby'obugagga mu nfuufu, Ne zaabu eya Ofiri mu mayinja ag'omu bugga; |
|
| 25 |
|
| Kale Omuyinza w'ebintu byonna ye anaabanga obugagga bwo, Era anaabanga ffeeza ya muwendo mungi gy'oli. |
|
| 26 |
|
| Kubanga lw'onoosanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna, Era onooyimusanga amaaso go eri Katonda. |
|
| 27 |
|
| Onoosabanga okusaba kwo eri ye, naye anaakuwuliranga; Era onoosasulanga obweyamobwo. |
|
| 28 |
|
| Era onoolagiranga ekigambo ne kinywera gy'oli; N'omusana gunaayakiranga amakubo go. |
|
| 29 |
|
| Bwe bakusuula, onooyogeranga nti Waliwo okuyimusibwa; Era anaalokolanga eyeetoowaza. |
|
| 30 |
|
| Anaawonyanga n'oyo aba taliiko musango: Weewaawo, anaawonyezebwanga olw'obulongoofu bw'engalo zo. |
|
|
|
|