×

Luganda Bible 2003

Yobu 22

1
Awo Elifaazi Omutemani n'addamu ng'agamba nti:
2
“Omuntu alina ky'ayinza okugasa Katonda? Ddala bw'abeera omugezi ayinza okwegasa.
3
Ggwe okuba omwenkanya kirina kye kiganyulamu Katonda? Wadde okubaako kye kimuyamba ggwe obutabaako ky'ovunaanibwa?
4
Akuvunaana lwa kumussaamu kitiibwa? Era kyava akuwozesa?
5
Nedda, akulanga bibi byo ebingi n'ebyonoono byo ebitaliiko kkomo.
6
Waggya ku baganda bo emisingo egy'obwereere, n'obambulamu n'engoye zaabwe n'obaleka bwereere.
7
Abakooye tewabawanga mazzi kunywa. Era wammanga emmere abayala.
8
Olw'okuba oli wa maanyi, ettaka lyonna walyefunza, ng'olirekako abo bokka b'oyagala.
9
Bannamwandu wabeegobako n'otobayamba. Walumyanga ne bamulekwa, ng'obanyagako ebyabwe.
10
Kyova weetooloozebwa emitego, n'ojjirwa n'eby'entiisa, ne bikweraliikiriza.
11
Ekizikiza kikubuutikira n'otosobola kulaba, n'obikkibwa engezi y'amazzi.
12
“Katonda ali waggulu mu ggulu. Alaba n'emmunyeenye gye zeewanise.
13
Oyinza okwebuuza nti: ‘Katonda amanya ki? Ayinza okusala omusango ng'abikkiddwa ebire ebikutte ekizikiza?’
14
Olowooza nti ebire ebikwafu bimuziyiza okulaba ng'atambulira ku nkulungo y'eggulu?
15
“Oyagala kukuuma mpisa ez'edda ababi mwe batambulira?
16
Ng'ekizimbe ekitwalibwa mukoka, baafa ekiseera kyabwe eky'okufa tekinnatuuka.
17
Bano be bantu abaagamba Katonda nti: ‘Tuveeko.’ Era nti: ‘Omuyinzawaabyonna ayinza kutukolako ki?’
18
Sso ng'ennyumba zaabwe yazijjuza ebirungi. Naye amagezi g'ababi sigakkiriza.
19
Abatuukirivu basanyuka n'abataliiko kye bavunaanibwa basekereza nnyini, bwe balaba ababi nga babonerezebwa.
20
Ne bagamba nti: ‘Mazima abalabe baffe bazikiriziddwa. Ne bye baleseewo, omuliro gubisaanyizzaawo.’
21
“Tabagana ne Katonda obe n'emirembe, olwo onoofuna ebirungi.
22
Kkiriza by'ayigiriza, okuume ebigambo bye mu mutima gwo.
23
Kyuka nga weetoowaza, odde eri Omuyinzawaabyonna, okomye ebibi byonna ebikolebwa mu nnyumba yo.
24
Suula ebyobugagga bwo mu nfuufu, ne zaabu omulungi ow'e Ofiri mu mayinja ag'omu kagga,
25
Katonda Omuyinzawaabyonna ye aba abeera zaabu wo. Era ye aba abeera ffeeza wo gwe watuuma entuumu.
26
Katonda Omuyinzawaabyonna lw'alikuwa essanyu eringi n'omutunuulira nga tolina ky'otya.
27
Anaakuwuliranga ng'oliko ky'omusaba n'otuukiriza kye weeyamye okukola.
28
Onoosalangawo eky'okukola n'okituukiriza. N'ekkubo ly'oyitamu linaabeerangamu ekitangaala.
29
Bwe waba abatoowazibwa, onoogambanga nti: ‘Eriyo okukuzibwa.’ Era Katonda alokola omwetoowaze.
30
Awonya omuntu ataliiko ky'avunaanibwa. Kale anaakuwonyanga nga tozzizza musango.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes