|
| 1 |
|
| Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti, |
|
| 2 |
|
| “Omuntu ayinza okugasa Katonda? Wadde oyo ow’amagezi ayinza okumuyamba? |
|
| 3 |
|
| Ayinzabyonna yandifunye kwesiima ki singa wali mutuukirivu? Yandiganyuddwa ki singa amakubo go gaali magolokofu? |
|
| 4 |
|
| “Akukangavvula lwa kumutya era kyava akuvunaana? |
|
| 5 |
|
| Okwonoona kwo si kunene nnyo? Ebibi byo si bingi nnyo? |
|
| 6 |
|
| Kubanga waggya ku muganda wo emisingo awatali nsonga; waggya engoye ku bantu, n’obaleka bwereere. |
|
| 7 |
|
| Tewawa bakoowu mazzi, abaagala wabamma emmere, |
|
| 8 |
|
| wadde nga wali musajja wa maanyi, eyalina ettaka, omusajja ow’ekitiibwa, era nga byonna ggwe nnyini byo. |
|
| 9 |
|
| Weegobako bannamwandu bagende nga toliiko ky’obawadde; abatalina bakitaabwe n’obamalamu amaanyi. |
|
| 10 |
|
| Emitego kyegivudde gikwetooloola. Lwaki entiisa ey’amangu ekujjira? |
|
| 11 |
|
| Lwaki enzikiza ekutte nnyo tosobola kulaba, era lwaki amataba gakubikkako? |
|
| 12 |
|
| “Katonda tali waggulu mu ggulu? Era laba, emmunyeenye ezisingayo okuba waggulu, nga bwe ziri ewala! |
|
| 13 |
|
| Ate n’ogamba nti, ‘Katonda amanyi ki? Ayinza okulamulira mu kizikiza? |
|
| 14 |
|
| Ebire ebikutte bimubikkako, n’aba ng’atatulaba bw’aba atambula mu bifo by’omu ggulu.’ |
|
| 15 |
|
| Onoosigala mu kkubo ery’edda abasajja abakozi b’ebibi lye baakwata? |
|
| 16 |
|
| Baatwalibwa ng’ekiseera kyabwe tekinnatuuka, emisingi gyabwe gyatwalibwa amataba. |
|
| 17 |
|
| Be bagamba Katonda nti, ‘Tulekere emirembe! Ayinzabyonna ayinza kutukola ki?’ |
|
| 18 |
|
| Ate nga ye, ye yajjuza ennyumba zaabwe ebintu ebirungi, noolwekyo neewuunya nnyo amagezi g’abakozi b’ebibi. |
|
| 19 |
|
| Abatuukirivu balaba okuzikirira kwabwe ne bajaguza; abataliiko musango babasekerera nga bagamba nti, |
|
| 20 |
|
| ‘Ddala abalabe baffe bazikiridde, era omuliro gulidde obugagga bwabwe.’ |
|
| 21 |
|
| “Gonderanga Katonda ofunenga emirembe; mu ngeri eno ebirungi lwe binajjanga gy’oli. |
|
| 22 |
|
| Kkiriza ebiragiro ebiva mu kamwa ke era oteeke ebigambo bye mu mutima gwo. |
|
| 23 |
|
| Bw’onodda eri oyo Ayinzabyonna, onodda buggya, bwonooteeka ebibi ewala ne weema yo, |
|
| 24 |
|
| n’oteeka n’amayinja go ag’omuwendo mu ttaka, zaabu yo eya Ofiri ku njazi z’omu mugga, |
|
| 25 |
|
| awo Ayinzabyonna anaabeeranga zaabu yo, era ffeeza esingayo obulungi. |
|
| 26 |
|
| Ddala ddala olisanyukira mu oyo Ayinzabyonna era oyimuse amaaso go eri Katonda. |
|
| 27 |
|
| Olimusaba, alikuwulira, era olituukiriza obweyamo bwo. |
|
| 28 |
|
| Ky’olisalawo kirikolebwa, era ekitangaala kirimulisa amakubo go. |
|
| 29 |
|
| Abantu abalala bwe balisuulibwa n’ogamba nti, ‘Bayimuse!’ Olwo alirokola abagudde. |
|
| 30 |
|
| Alinunula n’oyo aliko omusango, alinunulwa olw’obulongoofu bw’emikono gyo.” |
|
|
|
|