|
| 1 |
|
| Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'agamba nti: |
|
| 2 |
|
| Omuntu ayinza okugasa Katonda? Mazima ow'amagezi yeegasa yekka. |
|
| 3 |
|
| Katonda alina kyaganyulwamu ggwe okubeera omutuukirivu? Oba kimugasa ki ggwe okuba nga watukirira mu amakubo go? |
|
| 4 |
|
| Kubanga omutya kyava akunenya, Era kyava akuwozesa? |
|
| 5 |
|
| Ebibi byo si bingi? So n'obutali butuukirivu bwo tebuliiko kkomo |
|
| 6 |
|
| Kubanga waggya ku baganda bo emisingo egy'obwereere, N'obambula engoye zaabwe n'obaleka bwereere. |
|
| 7 |
|
| Abakooye tewabawanga mazzi kunywa. Era wammanga abayala emmere. |
|
| 8 |
|
| Wakozesa amaanyi okutwala ettaka lyonna, N'owaako abo bokka boyagala. |
|
| 9 |
|
| Wegobako bannamwandu n'otobayamba. Walumyanga ne bamulekwa, ng'obanyagako ebintu byabwe. |
|
| 10 |
|
| Obukunizo kyebuva bukwetooloola, N'entiisa ne kujjira noweraliikirira. |
|
| 11 |
|
| Ekizikiza kikubuutikidde toyinza kulaba, Olinga abikiddwako amazzi amangi. |
|
| 12 |
|
| Katonda ali waggulu mu ggulu. Alaba emmunyeenye gye zeewanise. |
|
| 13 |
|
| Naawe obuuza nti, “Katonda amanyi ki? Ayinza okusala omusango ng'abikkiddwako ebire ebikutte ekizikiza?” |
|
| 14 |
|
| Olowooza nti ebire ebikwafu bimuziyiza okulaba, Nga atambula ku kwekulungirira kw'eggulu. |
|
| 15 |
|
| Oyagala okukwata ekkubo ery'edda Abantu ababi lye batambulirangamu? |
|
| 16 |
|
| Baafa entuuko zaabwe nga tezinnatuuka, Ne baba ng'omusingi ogusaanyiziddwawo mukoka. |
|
| 17 |
|
| Bano be bantu abaagambanga Katonda nti, “Tuveeko.” Era nti Omuyinza w'ebintu byonna ayinza kutukola ki? |
|
| 18 |
|
| Sso ng'ennyumba zaabwe yazijjuza ebirungi. Naye okuteesa kw'ababi sikukkiriza. |
|
| 19 |
|
| Abatuukirivu bakiraba ne basanyuka; N'ataliiko musango abasekerera nnyo: |
|
| 20 |
|
| Ng'agamba nti, “Mazima abalabe baffe bamaliddwawo, N'abo abafisseewo omuliro gubasaanyizzawo. |
|
| 21 |
|
| Tabagana ne Katonda obeere n'emirembe, Olwo onoofuna ebirungi. |
|
| 22 |
|
| Kkiriza by'ayigiriza, Era okuume ebigambo bye mu mutima gwo. |
|
| 23 |
|
| Weetoowaze okyuke odde eri Omuyinza w'ebintu byonna, oggyewo ebibi byonna, Ebikolebwa mu nnyumba yo. |
|
| 24 |
|
| Suula eby'obugagga bwo mu nfuufu, Ne zaabu ow'e Ofiri mu mayinja ag'omu bugga, |
|
| 25 |
|
| Kale Omuyinza w'ebintu byonna ye anaabanga obugagga bwo, Era anaabanga ffeeza ya muwendo mungi gy'oli. |
|
| 26 |
|
| Kubanga Omuyinza w'ebintu byonna, alikuwa essanyu lingi, Era onooyimusanga amaaso go eri Katonda nga tolina ky'otya. |
|
| 27 |
|
| Onoomusabanga, naye anaakuwuliranga. Naawe onoosasulanga obweyamo bwo. |
|
| 28 |
|
| Era onoosalangawo eky'okukola n'okituukiriza. Ekitangaala kinaabeeranga mu makubo go. |
|
| 29 |
|
| Katonda asa wansi abamalala, N'alokola eyeetoowaza. |
|
| 30 |
|
| Awonya omuntu ataliiko musango. Kale anaakuwonyanga nga toliiko musango.” |
|
|
|
|