×

Luganda Bible

Yobu 23

1
Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2
Ne leero okwemulugunya kwange Okukubibwa kwange kusinga okusinda kwange obuzito.
3
Singa mmanyi gye nnyinza okumulabira, Singa nnyinza okutuuka n'awali entebe ye!
4
Nandiriraanyizza ensonga yange mu maaso ge, Ne njijuza akamwa kange ensonga.
5
Nandimanye ebigambo bye yandinzizeemu, Ne ntegeera bye yandiŋŋambye.
6
Yandinnyombesezza olw'obukulu bw'obuyinza bwe? Nedda, naye yandinzisizzaako omwoyo.
7
Eyo ab'amazima bandiyinzizza okuwoza naye; Bwe nnandiwonyezebbwa bwe ntyo ennaku zonna eri omulamuzi wange.
8
Laba, ntambula mu maaso, naye ye nga taliiyo; Ne ntambula ennyuma, naye ne ssiyinza kumulaba:
9
Ku mukono ogwa kkono, bw'akola omulimu, naye ne ssiyinza kumulaba: Yeekweka ku mukono ogwa ddyo n'okulaba ne ssiyinza kumulaba:
10
Naye amanyi ekkubo lye nkwata; Bw'alimala okunkema, ndivaamu nga zaabu.
11
Okugulu kwange kwasimbira ddala mu bigere bye; Ekkubo lye nalikwata ne ssikyama.
12
Siddanga nnyuma okuva mu kiragiro eky'emimwa gye; Natereka ebigambo eby'akamwa ke okusinga emmere yange eŋŋwanira.
13
Naye ye alowooza bumu, era ani ayinza okumukyusa? Era emmeeme ye kye yeegomba ekyo ky'akola.
14
Kubanga atuukiriza ekyo ekyanteekerwawo: N'ebingi ebiri bwe bityo biri naye.
15
Kyenva neeraliikirira ye okubaawo; Bwe ndowooza mmutya.
16
Kubanga Katonda azirisiza omutima gwange. Era Omuyinza w'ebintu byonna anteganyizza:
17
Kubanga saazikirizibwa okusooka ekizikiza, So teyabikka ku kizikiza ekikutte eri amaaso gange.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes