Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti: |
| 2 |
| “Ne leero neemulugunya era mpakanya, Wadde ngezaako obutasinda, naye siyinza kweziyiza. |
| 3 |
| Kale singa mmanya gye nnyinza okusanga Katonda, ne ntuuka n'awali entebe ye! |
| 4 |
| Nandisengese ensonga zange mu maaso ge, sandimulekeddeyo n'emu. |
| 5 |
| Nandimanye by'anziramu, ne ntegeera by'aŋŋamba. |
| 6 |
| Yandinnyombesezza mu bukulu bwe n'obuyinza bwe? Nedda, yandiwulirizza bye ŋŋamba. |
| 7 |
| Eyo omwesimbu ayinza okuwoza naye. Omulamuzi wange yandinnejjerezza ne biggwa. |
| 8 |
| “Kale nnoonya ebuvanjuba, naye nga Katonda taliiyo, n'ebugwanjuba ne simulabayo. |
| 9 |
| Katonda akolera mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, wabula siyinza kumulaba. |
| 10 |
| Kyokka ye amanyi ekkubo lye nkwata. Bw'alimala okungeza, ndivaamu ntukudde nga zaabu. |
| 11 |
| Ntambulira mu kkubo ly'ayitamu. Siriviiramu ddala n'akatono. |
| 12 |
| Sivanga ku by'andagira. Ngoberera by'ayagala, sso si ebyo nze bye neegomba. |
| 13 |
| “Naye ye y'omu bulijjo tewali ayinza kumukyusa Era akola ekyo ky'ayagala. |
| 14 |
| Ajja kutuukiriza ekyo, kye yanteekerateekera. Era alina bingi ebiri ng'ekyo. |
| 15 |
| Kyenva nfuna entiisa w'ali Sirema kutya bwe mmulowooza. |
| 16 |
| Kubanga Katonda anzirisizza, Omuyinzawaabyonna antekemudde. |
| 17 |
| Katonda ye antiisa sso si nzikiza, wadde ye enzibye amaaso. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/job/023.mp3
42
23