|
| 1 |
|
| Awo Yobu n’addamu nti, |
|
| 2 |
|
| “N’okutuusa leero okwemulugunya kwange kubalagala, omukono gwe gunzitoowerera wadde mbadde mu kusinda. |
|
| 3 |
|
| Singa nnali mmanyi aw’okumusanga nandisobodde okulaga gy’abeera! |
|
| 4 |
|
| Nanditutte empoza yange gy’ali, akamwa kange nga nkajjuzizza ensonga zange. |
|
| 5 |
|
| Nanditegedde kye yandinzizeemu, ne neetegereza kye yandiŋŋambye. |
|
| 6 |
|
| Yandimpakanyizza n’amaanyi mangi? Nedda, teyandinteeseko musango. |
|
| 7 |
|
| Eyo omuntu omutuukirivu asobola okutwalayo ensonga ye, era nandisumuluddwa omulamuzi wange emirembe n’emirembe. |
|
| 8 |
|
| “Bwe ŋŋenda ebuvanjuba, nga taliiyo; ne bwe ŋŋenda ebugwanjuba, simusangayo. |
|
| 9 |
|
| Bw’aba akola mu bukiikakkono simulaba, bw’adda mu bukiikaddyo, simulabako. |
|
| 10 |
|
| Naye amanyi amakubo mwe mpita, bw’anaamala okungezesa, nzija kuvaamu nga zaabu. |
|
| 11 |
|
| Ebigere byange bimugoberedde; ntambulidde mu makubo ge nga sikyamakyama. |
|
| 12 |
|
| Saava ku biragiro by’akamwa ke. Nayagala ebigambo by’akamwa ke okusinga emmere yange gyendya bulijjo. |
|
| 13 |
|
| “Naye yeemalirira, ani ayinza okumuwakanya? Akola kyonna ekimusanyusa. |
|
| 14 |
|
| Weewaawo ajja kutuukiriza by’asazzeewo okunjolekeza, era bingi byategese by’akyaleeta. |
|
| 15 |
|
| Kyenva mba n’entiisa nga ndi mu maaso ge; bwe ndowooza ku bino byonna, ne mmutya. |
|
| 16 |
|
| Katonda anafuyizza nnyo omutima gwange, Ayinzabyonna antiisizza nnyo. |
|
| 17 |
|
| Naye ekizikiza tekinsirisizza, ekizikiza ekikutte ennyo ekibisse amaaso gange.” |
|
|
: |
| 1 | | 2 | | 3 | | 4 | | 5 | | 6 | | 7 | | 8 | | 9 | | 10 | | 11 | | 12 | | 13 | | 14 | | 15 | | 16 | | 17 | 1
1
1 |
|
|---|
|
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/job/023.mp3
42
23