EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Awo Yobu n'addamu n'agamba nti: |
| 2 |
| “Ne leero okwemulugunya kwange kuka, Omukono gwe gwa maanyi ku nze, newakubadde nga nsinda. |
| 3 |
| Singa mmanyi gye nnyinza okumulabira, Singa nnyinza okutuuka n'awali entebe ye! |
| 4 |
| Nandisengese ensonga zange mu maaso ge, Sandireseyo n'emu. |
| 5 |
| Nandimanye ebigambo bye yandinzizeemu, Ne ntegeera bye yandiŋŋambye. |
| 6 |
| Yandinnyombesezza olw'obukulu bw'obuyinza bwe? Nedda, naye yandinzisizzaako omwoyo. |
| 7 |
| Eyo ow'amazima ayinza okuwoza naye, Nange nandyejjerezeddwa omulamuzi wange ne biggwa. |
| 8 |
| Munnoonya ebuvanjuba, naye nga Katonda taliiyo, N'ebugwanjuba, nayo ne simulabayo. |
| 9 |
| Katonda bw'akola omulimu mu bukiikakkono, ssiyinza kumulaba. Bwe yeekweka mu bukiikaddyo, ssiyinza kumulaba. |
| 10 |
| Naye amanyi ekkubo lye nkwata. Bw'alimala okungeza, ndivaamu nga zaabu. |
| 11 |
| Ntambulira ddala mu bigere bye. Ekkubo lye naalikwata ne ssikyama. |
| 12 |
| Sivanga ku biragiro bye. Nneekuuma ebigambo bye sso si ebyo nze bye njagala. |
| 13 |
| Naye ye y'omu bulijjo, tewali ayinza okumukyusa. Akola ekyo ye kyayagala. |
| 14 |
| Ajja kutuukiriza ekyo kye yanteekerateekera. Era alina bingi ebiri ng'ebyo. |
| 15 |
| Kyenva nfuna entiisa waali, Bwe ndowooza mmutya. |
| 16 |
| Kubanga Katonda anzirisizza, Omuyinza w'ebintu byonna antisizza. |
| 17 |
| Katonda ye antiisa sso si nzikiza, Wadde yo enzibye amaaso gange.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/job/023.mp3
42
23