1
“Lwaki Omuyinzawaabyonna tateekawo biseera bya kusaliramu musango? Lwaki abaweereza be tebalaba bw'asala musango mu bwenkanya?
2
Waliwo abajjulula empaanyi z'ebituuti, okugaziya ettaka lyabwe. Banyaga ebisolo, ne babyerundira ng'ebyabwe.
3
Batwala endogoyi ya mulekwa. Ente ya nnamwandu gwe bawola bagisigaza nga musingo.
4
Bagoba abaavu bave mu luguudo. Abanaku abali mu ggwanga, bonna balina kwekweka.
5
Olwo abaavu ne baba ng'entulege: babeera eyo mu ttale nga bakola okunoonya akamere, ak'okuwa ku baana baabwe balye.
6
Mu nnimiro ezitali zaabwe mwe banoonya kye bawa ensolo zaabwe. Banoga ku mizabbibu egirekeddwa mu nnimiro z'aboonoonyi.
7
Basula bali bwereere, awatali na kye beebisse okuwona empewo efuuwa.
8
Enkuba ebatobeza mu nsozi. Ne beekwata ku lwazi, nga we beggama tewali.
9
Waliwo abakwakula abaana abatalina bakitaabwe ne babaggya ku bannyaabwe Ne batwala omwana w'omwavu, ng'omusingo gw'ebbanja.
10
Abaavu bayita bwereere, nga tebalina kye bambadde. Enjala n'ebaluma nga beetisse emmere y'empeke gye bakungudde.
11
Bakamulira omuzigo gw'emizayiti mu bisenge by'abo. Basogola emizabbibu mu masogolero gaabwe, bo ne balumwa ennyonta.
12
Abafa basinda mu kibuga n'abafumitiddwa badaaga. Naye Katonda tafaayo ku bisobyo bibakolebwa.
13
“Waliwo abajeemera ekitangaala. Beewala era tebatambulira mu kkubo omuli ekitangaala.
14
Omutemu agolokokera wamu n'emmambya n'atta omwavu n'omunaku. Era ekiro n'aba omubbi.
15
Omusajja omwenzi alinda budde kukwata, n'agamba nti: ‘Tewali anandaba.’ Amaaso ge n'agakweka.
16
Mu kiro ababbi mwe bakubira ekituli mu nnyumba, emisana ne beggalira, ne beewala ekitangaala.
17
Eky'obudde okukya bakitya, bamanyidde bikangabwa bya nzikiza.
18
“Omubi akuluggusibwa ng'amazzi. N'ekibanja kye kikolimiddwa, tewakyali akola mu mizabbibu gye.
19
Ng'ebbugumu ly'ekyeya bwe limalawo amazzi g'omuzira ogusaanuuse, n'amagombe bwe gamalawo omwonoonyi.
20
Ne nnyina yennyini amwerabira. Envunyu zimweriira; Azikirira ng'omuti ogutemeddwa.
21
Ayisa bubi omugumba, atazaalanga ku mwana. Ne nnamwandu n'atamukolera kalungi.
22
Naye Katonda alina amaanyi okuggyawo bannakyemalira. Asituka n'abamalako essuubi ery'okuba abalamu.
23
Yandibawa emirembe ne beeyinula. Kyokka abasimbye amaaso.
24
“Bagulumizibwa okumala ebbanga, oluvannyuma ne babulawo. Batoowazibwa ne baggyibwawo ng'abalala bonna. Baba ng'ebirimba by'eŋŋaano ebisaliddwa ku kikolo.
25
Oba si bwe kiri, ani anannumiriza nti nnimba, ne bye njogera temuli nsa?”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.