|
| 1 |
|
| Lwaki Omuyinza w'ebintu byonna tateekawo kiseera kya kusaliramu musango? Lwaki n'abo abamumanyi tebalaba bwasalira ababi omusango? |
|
| 2 |
|
| Waliwo abajjulula obubonero bw'ensalo, ne beeyongeza ettaka, Banyaga ebisolo, ne babyerundira ng'ebyabwe. |
|
| 3 |
|
| Batwala endogoyi ya mulekwa. Batwala ente ya nnamwandu okuba omusingo. |
|
| 4 |
|
| Bagoba abaavu bave mu luguudo. Abaavu ab'omu nsi baba balina kwekweka. |
|
| 5 |
|
| Olwo abaavu ne baba ng'entulege mu ddungu. Babeera eyo nga bakola okufuna eky'okulya, n'okuwa ku baana baabwe balye. |
|
| 6 |
|
| Banoonya emmere ey'ebisolo byabwe mu nnimiro ezitali zaabwe. Era banoga ezabbibu mu nnimiro za babi. |
|
| 7 |
|
| Basula bali bwereere, ne bakeesa obudde. Nga tebalina kye beebise okuwona empewo okubafuuwa. |
|
| 8 |
|
| Enkuba ebatobeza mu nsozi. Ne beekwata ku lwazi, nga babuliddwa we beggama. |
|
| 9 |
|
| Waliwo abakwakula abatalina kitaabwe ne babaggya ku mabeere, Ne batwala omwana wo mwavu okuba omusingo. |
|
| 10 |
|
| Abaavu bayita bwereere, nga tebalina kye bambadde, Enjala n'ebaluma nga beetise ebinywa. |
|
| 11 |
|
| Bakamulira amafuta g'Omuzeyituuni mu bisenge by'abasajja abo, Babasogolera omubisi gw'omuzabbibu, naye bo ne balumwa ennyonta. |
|
| 12 |
|
| Abantu bafa basinda mu kibuga, N'abafumitiddwa balajjana. Naye Katonda tafaayo ku kwegayirira kwabwe. |
|
| 13 |
|
| Waliwo abajeemera omusana, Tebamanyi bya musana, Beewala okubeera mu kkubo lya gwo. |
|
| 14 |
|
| Omutemu agolokokera wamu n'emmambya n'atta omwavu n'omunaku. Ate ekiro n'aba omubbi. |
|
| 15 |
|
| Omwenzi alinda obudde okukwata ekizikiza, Naagamba nti, “Tewali anandaba.” Naakweka amaaso ge. |
|
| 16 |
|
| Mu kizikiza ababi mwe basimira ennyumba, Emisana beggalira, Nga beewala ekitangaala. |
|
| 17 |
|
| Eky'obudde okukya bitya, Kubanga bamanyidde ebitiisa eby'omu nzikiza. |
|
| 18 |
|
| Omubi akulugusibwa nga mukoka. Ettaka lye likolimiddwa. Talina n'omu akola mu nsuku z'emizabbibu gye. |
|
| 19 |
|
| Ng'ebbugumu ly'ekyeya bwe limalawo amazzi g'omuzira, N'amagombe bwe gatyo bwe gamalawo omwonoonyi. |
|
| 20 |
|
| Ne nnyina yennyini amwerabira. envunyu zimweriira; Tajjukirwenga nate: Azikirira ng'omuti ogutemeddwa. |
|
| 21 |
|
| Ayisa bubi omukazi omugumba, Era ne nnamwandu tamuyisa bulungi. |
|
| 22 |
|
| Katonda alina amaanyi okuggyawo abazira, Asituka n'abamalako essuubi ery'okuba abalamu. |
|
| 23 |
|
| Katonda abawa emirembe, ne beeyinula. Naye amaaso ge gali ku makubo gaabwe. |
|
| 24 |
|
| Bagulumizibwa okumala ekiseera, oluvannyuma ne babulawo. Batoowazibwa, baggyibwawo ng'abalala bonna. Era basalibwa ng'emitwe gy'ebirimba by'eŋŋaano. |
|
| 25 |
|
| Era oba nga si bwe kiri, ani anaannumiriza nti nnimba, Naafuula okwogera kwange obutabaako kye kugasa? |
|
|
|
|