Luganda Bible
|
| 1 |
| Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti |
| 2 |
| Okufuga n'entiisa biri naye; Aleeta emirembe mu bifo bye ebigulumivu. |
| 3 |
| Eggye lye liriko gye likoma? Era ani ataviirwayo omusana gwe? |
| 4 |
| Kale omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda? Oba ayinza atya okuba omulongoofu oyo azaalibwa omukazi? |
| 5 |
| Laba, n'omwezi tegulina kumasamasa, N'emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge: |
| 6 |
| Okusinga ennyo omuntu, envunyu! N'omwana w'omuntu, olusiriŋŋanyi! |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/job/025.mp3
42
25