Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Biludaadi Omusuuhi, n'addamu ng'agamba nti: |
| 2 |
| “Katonda ye alina obuyinza obufuga, wa ntiisa. Aleeta emirembe mu bwakabaka bwe obw'omu ggulu. |
| 3 |
| Amagye g'alina tegabalika. Ekitangaala kye kyakira buli wantu. |
| 4 |
| Kale mu maaso ga Katonda omuntu ayinza atya okuba omutuukirivu? Era azaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu? |
| 5 |
| Mu maaso ge, oba n'omwezi tegwakaayakana; N'emmunyeenye ziba ng'ezitalina kitangaala. |
| 6 |
| Kale alabisa omuntu envunyu obuvunyu; Omwana w'omuntu, olusiriŋŋanyi!” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/job/025.mp3
42
25