EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'agamba nti; |
| 2 |
| Okufuga n'entiisa biri ne Katonda. Aleeta emirembe mu bifo bye eby'omu ggulu. |
| 3 |
| Eggye lye liriko gye likoma? Era ani ataakirwa musana gwe? |
| 4 |
| Kale omuntu ayinza atya okuba omutuukirivu mu maaso ga Katonda? Oba ayinza atya okuba omulongoofu oyo azaalibwa omukazi? |
| 5 |
| N'omwezi tegwakaayakana, N'emmunyeenye ziba ng'ezitalina kitangaala mu maaso ge. |
| 6 |
| Kale kiri kitya eri omuntu envunyu obuvunyu; Omwana w'omuntu, olusiriŋŋanyi! |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/job/025.mp3
42
25