Luganda Bible
|
| 1 |
| Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti |
| 2 |
| Atalina buyinza ng'omubedde so! Omukono ogutalina maanyi ng'ogulokodde so! |
| 3 |
| Atalina magezi ng’omuweeredde so, N'oyatula bingi nnyo eby'okutegeera obulungi! |
| 4 |
| Ani gw'obuulidde ebigambo? N'omwoyo gwani oguwedde mu ggwe? |
| 5 |
| Abaafa bakankana wansi w'amazzi n'ababeera omwo. |
| 6 |
| Amagombe gali bwereere mu maaso ge, N'okuzikirira tekulina kye kwebikka. |
| 7 |
| Abamba obukiika obwa kkono mu bbanga ejjereere, Era awanika ensi awatali kintu. |
| 8 |
| Asiba amazzi mu bire bye ebiziyivu; Ekire ne kitayulika wansi we. |
| 9 |
| Aziba obwenyi bw'entebe ye, N'agyaliirako ekire kye. |
| 10 |
| Yassaawo embibi ku maaso g'amazzi, Okutuusa omusana n'ekizikiza we bikoma. |
| 11 |
| Empagi ez'eggulu zikankana ne zeewuunya olw'okunenya kwe. |
| 12 |
| Afuukuula ennyanja olw'obuyinza bwe, Era afumitira ddala Lakabu olw'okutegeera kwe. |
| 13 |
| Eggulu liyonjebwa olw'omwoyo gwe; Omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka. |
| 14 |
| Laba, gano ge mabbali gokka ag'amakubo ge: N'akagambo ke tumuwulirako nga katono! Naye okubwatuka okw'obuyinza bwe ani ayinza okukutegeera? |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/job/026.mp3
42
26