×

Luganda Bible 2003

Yobu 26

1
Awo Yobu n'addamu ng'agamba nti:
2
“Kale ng'oyambye omunafu ali nga nze! Ng'odduukiridde ataliimu maanyi!
3
Kale laba bw'owadde amagezi atalina ky'amanyi! Olaze ebingi by'otegeera obulungi!
4
Ani akuyambyeko okwogera obulungi bw'otyo? Ani akuweeredde by'oyogedde?
5
“Emagombe mu mazzi, agali eyo wansi, abafu bakankana nga batidde.
6
Emagombe teri kikwekeddwa Katonda. Era alaba byonna ebiri mu kifo eky'okuzikirira.
7
Abamba eggulu ery'omu bukiikakkono mu bbanga ejjereere. Era awanika ensi awatali kigiwanirira.
8
Asiba amazzi mu bire bye ebiziyivu, ne bitayulika olw'obuzito.
9
Akweka entebe ye ng'agibikkako ebire bye.
10
Yassaawo enkulungo ku nnyanja, okwawula ekitangaala ku kizikiza.
11
Empagi z'eggulu zikankana ne zijugumira bw'akangamu okuzisaanyaawo.
12
Obuyinza bwe bukkakkanya ennyanja. Olw'amagezi ge azikiriza ekikulejje kyamu Rahabu.
13
Yafuuwa ebire n'abyera ku ggulu. Yakwata ekissi n'afumita ekikulejje ky'omu nnyanja ekiwulukuka.
14
Naye ebyo katundu butundu ak'ebintu by'akola. Era bye tumuwulirako bye bitono ddala. Naye obuyinza bwe obw'amaanyi ani ayinza okubutegeera?”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes