|
| 1 |
|
| Awo Yobu n’addamu nti, |
|
| 2 |
|
| “Ng’oyambye oyo atalina maanyi! Ng’oyambye omukono ogwo ogutalina maanyi! |
|
| 3 |
|
| Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi! Ng’owadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu! |
|
| 4 |
|
| Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo? Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko? |
|
| 5 |
|
| “Abafu kye balimu tekigumiikirizika, n’abo abali wansi w’amazzi ne bonna abagabeeramu. |
|
| 6 |
|
| Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda; n’okuzikiriza tekulina kikubisse. |
|
| 7 |
|
| Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere, awanika ensi awatali kigiwanirira. |
|
| 8 |
|
| Asiba amazzi mu bire bye; ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa. |
|
| 9 |
|
| Abikka obwenyi bw’omwezi, agwanjululizaako ebire bye. |
|
| 10 |
|
| Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita, ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza. |
|
| 11 |
|
| Empagi z’eggulu zikankana, zeewuunya olw’okunenya kwe. |
|
| 12 |
|
| Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe, n’asalaasala Lakabu mu bitundutundu n’amagezi ge. |
|
| 13 |
|
| Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu, omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka. |
|
| 14 |
|
| Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola. Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali! Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?” |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/job/026.mp3
42
26