×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Yobu 26

1
Awo Yobu n'addamu n'agamba nti,
2
“Ng'oyambye omunafu ali nga nze! Ng'olokodde ataliimu maanyi!
3
Owadde amagezi atalina ky'amanyi, Oyogedde bingi by'otegeera obulungi!
4
Ani akuyambyeko okwogera obulungi bw'otyo? Ebigambo ebyo obijje w'ani?
5
Abaafa bakankana Wansi w'amazzi n'ababeera omwo.
6
Emagombe teri kikwekeddwa Katonda. N'okuzikirira tekulina kikukweka.
7
Abamba eggulu ery'omu bukiikakkono mu bbanga ejjereere, Era awanika ensi awatali kigiwanirira.
8
Asiba amazzi mu bire bye ebiziyivu; Ne bitayulika olw'obuzito.
9
Akweka entebe ye, Ng'agibikkako ebire bye.
10
Yassaawo enkulungo ku nnyanja, Okwawula ekitangaala ku kizikiza.
11
Empagi ez'eggulu zikankana Bwakangamu okuzisaanyaawo.
12
Obuyinza bwe bukkakkanya ennyanja. Olw'amagezi ge afumitira ekikulekule Lakabu.
13
Yafuuwa empewo neyerula Eggulu Omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
14
Naye ebyo katundu butundu ak'ebyo by'akola. Era bye tumuwulirako bye bitono ddala. Naye obuyinza bwe obw'amaanyi ani ayinza okubutegeera?”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes