|
| 1 |
|
| Awo Yobu n'aleeta nate olugero lwe n’ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Nga Katonda bw'ali omulamu alidde ensonga yange; Era Omuyinza w'ebintu byonna, eyeeraliikiriza emmeeme yange; |
|
| 3 |
|
| (Kubanga obulamu bwange bukyali bulamba mu nze, n'omwoyo gwa Katonda guli mu nnyindo zange;) |
|
| 4 |
|
| Mazima emimwa gyange tegyogere butali butuukirivu, So n'olulimi lwange terwatule bulimba. |
|
| 5 |
|
| Katonda akiddize eri nze okubawa obutuukirivu: Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange. |
|
| 6 |
|
| Obutuukirivu bwange mbunyweza so ssiibutenga: Omutima gwange tegunnenyenga nga nkyali mulamu. |
|
| 7 |
|
| Omulabe wange abe ng'omubi. N'oyo angolokokerako abe ng'atali mutuukirivu. |
|
| 8 |
|
| Kubanga essuubi ly'atamanyi Katonda kye ki, newakubadde nga yeefunira amagoba, Katonda bw'aggyawo obulamu bwe? |
|
| 9 |
|
| Katonda anaawuliranga okukaaba kwe, Ennaku bwe zinaamutuukangako? |
|
| 10 |
|
| Anaasanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna, N'akaabira Katonda mu biro byonna? |
|
| 11 |
|
| N'abayigiriza eby'omukono gwa Katonda; Ekiri n'Omuyinza w'ebintu byonna ssiikikweke. |
|
| 12 |
|
| Laba, mmwe mwenna mmwe bennyini mukirabye; Kale kiki ekyabafuulira ddala abataliiko kye mugasa? |
|
| 13 |
|
| Guno gwe mugabo gw'omuntu omubi eri Katonda, N'obusika, bw'abajoozi bwe baweebwa Omuyinza w'ebintu byonna. |
|
| 14 |
|
| Abaana be bwe beeyongera, beeyongerera ekitala; N'enda ye terikkuta mmere. |
|
| 15 |
|
| Abanaasigalangawo ku ye banaaziikibwanga mu kufa, ne bannamwandu be tebaakungubagenga. |
|
| 16 |
|
| Newakubadde ng'atuuma ffeeza ng'enfuufu, n'ategeka ebyambalo ng'ettaka; |
|
| 17 |
|
| Okutegeka ayinza okubitegeka, naye omutuukirivu ye alikyambala, Era ataliiko musango ye aligabana ffeeza. |
|
| 18 |
|
| Azimba ennyumba ye ng'ekiwojjolo, Era ng'ensiisira omukuumi gy'akola. |
|
| 19 |
|
| Agalamira nga mugagga, naye taakungulwenga; Azibula amaaso, kale nga takyaliwo. |
|
| 20 |
|
| Ebitiisa bimukwata ng'amazzi; Kibuyaga amutwala kyama kiro. |
|
| 21 |
|
| Embuyaga ez'ebuvanjuba zimutwalira ddala n'agenda; Ne zimuggya mu kifo kye lwa maanyi. |
|
| 22 |
|
| Kubanga Katonda alimukasuukirira n'atasaasira: Yandyagadde okudduka mu mukono gwe. |
|
| 23 |
|
| Abantu balimukubira mu ngalo, Era balimusooza ave mu kifo kye. |
|
|
|
|