|
| 1 |
|
| Yobu n’ayongera okwogera kwe bw’ati nti, |
|
| 2 |
|
| “Nga Katonda bw’ali omulamu, agaanye okusala ensonga yange mu mazima, oyo Ayinzabyonna, aleetedde emmeeme yange okulumwa, |
|
| 3 |
|
| gye nkomye okuba nga nkyalina obulamu mu nze, omukka gwa Katonda nga gukyali mu nnyindo zange, |
|
| 4 |
|
| emimwa gyange tegijja kwogera butali butuukirivu, era olulimi lwange terujja kwogera bulimba. |
|
| 5 |
|
| Sirikkiriza nti muli batuufu; okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange. |
|
| 6 |
|
| Nzija kwongera okunywerera ku butuukirivu bwange obutabuleka; omutima gwange tegunsalira musango nga nkyali mulamu. |
|
| 7 |
|
| “Abalabe bange babeere ng’abakozi b’ebibi, n’abo abangolokokerako babeere ng’abatali batuukirivu! |
|
| 8 |
|
| Kubanga ssuubi ki oyo atalina Katonda ly’aba nalyo ng’asaliddwako, nga Katonda amuggyeko obulamu? |
|
| 9 |
|
| Katonda awulira okukaaba kwe ng’ennaku emujjidde? |
|
| 10 |
|
| Alifuna essanyu mu oyo Ayinzabyonna? Aliyita Katonda ebbanga lyonna? |
|
| 11 |
|
| Nzija kubayigiriza ebikwata ku maanyi ga Katonda; ebikwata ku oyo Ayinzabyonna sijja kubikweka. |
|
| 12 |
|
| Weekalirize bino byonna bye mwerabiddeko, lwaki kaakano okwogera ebyo ebitalina makulu? |
|
| 13 |
|
| “Eno y’empeera Katonda gy’awa abakozi b’ebibi, omugabo omuntu omujoozi gw’afuna okuva eri oyo Ayinzabyonna: |
|
| 14 |
|
| Abaana be ne bwe baba bangi batya, enkomerero yaabwe kitala; ezzadde lye teririfuna byakulya bibamala. |
|
| 15 |
|
| Abo abaliwona kawumpuli, balifa ne baziikibwa, ne bannamwandu baabwe tebalibakaabira. |
|
| 16 |
|
| Wadde ng’atereka effeeza ng’enfuufu, n’engoye ng’entuumo y’ebbumba, |
|
| 17 |
|
| ebyo bye yeeterekera omutuukirivu y’alibyambala, era abo abatalina musango be baligabana effeeza ye. |
|
| 18 |
|
| Ennyumba gy’azimba eribeera ng’ey’ekiwojjolo; ng’akasiisira akazimbiddwa omukuumi. |
|
| 19 |
|
| Agenda okwebaka nga mugagga, naye ekyo tekiddemu kubaawo, kubanga alizuukuka nga byonna biweddewo. |
|
| 20 |
|
| Entiisa erimuzingako ng’amataba; kibuyaga amutwala ekiro mu kyama. |
|
| 21 |
|
| Embuyaga ey’ebuvanjuba emutwalira ddala n’agenda; emuggya mu kifo kye n’amaanyi. |
|
| 22 |
|
| Emukuba awatali kusaasira, ng’adduka ave mu maanyi gaayo. |
|
| 23 |
|
| Erimukubira engalo zaayo, n’emusiiya okuva mu kifo kye.” |
|
|
|
|