|
| 1 |
|
| Mazima waliwo gye basimira ffeeza, N'ekifo kya zaabu gye balongoosa. |
|
| 2 |
|
| Ekyuma kiggibwa mu ttaka, N'ekikomo bakisaanuusa okukiggya mu jjinja. |
|
| 3 |
|
| Abantu babibira ekizikiza, Ne bakenneenya okutuuka ku nsalo ekomererayo, Amayinja ag'ekizikiza ekikutte n'ag'ekisiikirize eky'okufa. |
|
| 4 |
|
| Basima obunnya obuli ewala n'abantu we batuula; Beerabirwa ekigere ekiyitawo: Balengejjera wala n'abantu, bawuubibwawuubibwa eruuyi n'eruuyi. |
|
| 5 |
|
| Ensi ye evaamu emmere: Era wansi evuunikibwa ng'ekivuunikibwa n'omuliro. |
|
| 6 |
|
| Amayinja gaayo kifo kya safiro, Era erina enfuufu eya zaabu. |
|
| 7 |
|
| Ekkubo eryo tewali nnyonyi eyigga erimanyi, So n'amaaso ga kamunyi tegalirabanga. |
|
| 8 |
|
| Ensolo ezaamalala teziririnnyangamu, So n'empologoma enkambwe teriyitangamu. |
|
| 9 |
|
| Agolola omukono gwe ku jjinja ery'embaalebaale; Avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka. |
|
| 10 |
|
| Atema ensalosalo mu njazi; N'amaaso ge galaba buli kintu eky'omuwendo omungi. |
|
| 11 |
|
| Asiba emigga gireme okukulukuta; N'ekigambo ekyakisibwa akireeta awalaba. |
|
| 12 |
|
| Naye amagezi ganaalabikanga wa? N'ekifo eky'okutegeera we kubeera kiri ludda wa? |
|
| 13 |
|
| Abantu tebamanyi muwendo gwago; So tegalabika mu nsi ey'abalamu. |
|
| 14 |
|
| Obuziba bwogera nti Tegali mu nze: N'ennyanja eyogera nti Tegali we ndi. |
|
| 15 |
|
| Tegafunika lwa zaabu, So ne ffeeza teripimibwa okugagula. |
|
| 16 |
|
| Tegayinzika kwenkanyankanyizibwa ne zaabu eya Ofiri, Ne onuku ey'omuwendo omungi oba safiro. |
|
| 17 |
|
| Zaabu n'endabirwamu tebiyinza kugenkana: So n'amakula aga zaabu ennungi tegaabenga buguzi bwago. |
|
| 18 |
|
| Tebaayogerenga ku kolali n'amayinja ag'endabirwamu: Weewaawo, omuwendo ogw'amagezi gusinga amayinja amatwakaavu. |
|
| 19 |
|
| Topazi eriva e Buwesiyopya teriigenkanenga, So tegenkanyankanyizibwenga ne zaabu ennungi. |
|
| 20 |
|
| Kale amagezi gava wa? N'ekifo okutegeera we kubeera kiri ludda wa? |
|
| 21 |
|
| Kubanga gakwekebwa amaaso g'abalamu bonna, Era gakisibwa ennyonyi ez'omu bbanga. |
|
| 22 |
|
| Okuzikirira n'Okufa kwogera nti Twawulira ekigambo kyago n'amatu gaffe. |
|
| 23 |
|
| Katonda ategeera ekkubo lyago, Era ye amanyi ekifo kyago. |
|
| 24 |
|
| Kubanga atunuulira okutuuka ku nkomerero z'ensi, Era alaba ebiri wansi w'eggulu lyonna; |
|
| 25 |
|
| Okukolera empewo ekigera; Weewaawo, apima amazzi n'ekipima. |
|
| 26 |
|
| Bwe yateekera enkuba etteeka, N'ekkubo ery'okumyansa okw'okubwatuka: |
|
| 27 |
|
| Awo n'alyoka agalaba n'agabuulira; Yaganyweza, weewaawo, n'agakenneenyeza ddala. |
|
| 28 |
|
| Era n'agamba abantu nti Laba, okutya Mukama okwo ge magezi; N'okuleka obubi kwe kutegeera. |
|
|
|
|