|
| 1 |
|
| “Kituufu ebaayo ekirombe omusimibwa ffeeza. N'ebaayo n'ekifo gye balongooseza zaabu. |
|
| 2 |
|
| Mu ttaka mwe basima ekyuma. Basaanuusa biyinja, okufunamu ekikomo. |
|
| 3 |
|
| Abantu bagoba enzikiza nga bakoleeza emimuli, ne banoonya eyo mu ttaka wansi ebiyinja bye banaasimayo mu bunyomero eyo ekuzimu. |
|
| 4 |
|
| Bayiikuula eyo ewala eteba bantu, n'abatambuze gye batayita, ne bawanirirwa emiguwa kwe beewuubira okukka, nga bali eyo bokka ku bwabwe. |
|
| 5 |
|
| Emmere erimwa ku nsi. Naye wansi w'ensi eyo, wali ng'awali omuliro. |
|
| 6 |
|
| Enjazi zaayo mwe baggya amayinja ga bbululu agayitibwa Safiro. Ne mu nfuufu yaayo mulimu zaabu. |
|
| 7 |
|
| Ekkubo ery'omu birombe tewali nnyonyi eyigga erimanyi. Terirabwanga na kamunye. |
|
| 8 |
|
| Teriyitibwangamu nsolo nkambwe. Era empologoma terikwatanga. |
|
| 9 |
|
| “Abantu baasa enjazi enkalubo. Basima ensozi, okutuuka ku ntobo zaazo. |
|
| 10 |
|
| Batema emikutu mu njazi ne bakuba eriiso ku buli kintu eky'omuwendo ennyo. |
|
| 11 |
|
| Batangira emigga okukulukuta, ebikise ne babiteeka awalaba. |
|
| 12 |
|
| “Naye amagezi gasangwa wa? Ludda wa awaba okutegeera? |
|
| 13 |
|
| Tegasangibwa mu nsi y'abalamu. N'omuntu tamanyi muwendo gugalimu. |
|
| 14 |
|
| Obuziba bugamba nti: ‘Tegali mu nze.’ N'ennyanja egamba nti: ‘Tegali we ndi.’ |
|
| 15 |
|
| Towaayo zaabu n'ogafuna. Topima ffeeza n'ogagula. |
|
| 16 |
|
| Zaabu omulungi ow'e Ofiri tagenkana muwendo. Wadde amayinja ag'omuwendo Onika oba Safiro. |
|
| 17 |
|
| Zaabu n'endabirwamu tebiyinza kugenkana. Tegayinza kuwaanyisibwa na kibya kyakolebwa mu zaabu. |
|
| 18 |
|
| Mu kuba ag'omuwendo, amagezi gasingira wala amayinja agayitibwa korali, ne kristaalo, ne luulu. |
|
| 19 |
|
| Topaazi eriva mu Kuusi, ne zaabu akira obulungi, nabyo tebyenkana magezi. |
|
| 20 |
|
| “Kale amagezi gava wa? Ludda wa awaba okutegeera? |
|
| 21 |
|
| Ebiramu byonna gabyekwese, n'ennyonyi ezibuuka mu bbanga. |
|
| 22 |
|
| Amagombe n'Okuzikirira bigamba nti: ‘Twewulirirako n'agaffe Bye bagoogerako mu ŋŋambo.’ |
|
| 23 |
|
| “Katonda yekka ye amanyi awabeera amagezi, ye ategeera ekkubo erituusaayo. |
|
| 24 |
|
| Kubanga ye atuusa amaaso mu buli kanyomero ka nsi. Ye alaba buli kantu akali wansi w'eggulu. |
|
| 25 |
|
| Bwe yawa empewo obuzito, n'apima amazzi n'ekigero; |
|
| 26 |
|
| Bwe yateekera enkuba etteeka, n'enjota ekkubo ly'ekwata, |
|
| 27 |
|
| olwo n'alaba amagezi, n'agalangirira. N'agakebera n'ageekenneenya. |
|
| 28 |
|
| N'agamba abantu nti: ‘Okutya Mukama ge magezi; Okwewala okukola ekibi, kwe kutegeera.’ ” |
|
|
|
|