|
| 1 |
|
| “Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza, n’ekifo gye balongooseza effeeza. |
|
| 2 |
|
| Ekyuma kisimibwa mu ttaka, n’ekikomo ne bakisaanuusa okukiggya mu mayinja. |
|
| 3 |
|
| Omuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi, asime ekyuma mu kizikiza ekiri wansi ennyo. |
|
| 4 |
|
| Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera, mu bifo eteyita bantu, ewala okuva abantu gye bayita. |
|
| 5 |
|
| Ensi evaamu emmere, naye wansi waayo yafuusibwa nga muliro. |
|
| 6 |
|
| Safira eva mu mayinja gaayo, era enfuufu yaayo erimu zaabu. |
|
| 7 |
|
| Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino, wadde n’amaaso ga kamunye tegarirabanga. |
|
| 8 |
|
| Ekibinja ky’empologoma ento tekituukangayo, tewali mpologoma yali eyiseeyo. |
|
| 9 |
|
| Omuntu ayasa n’omukono gwe ejjinja ery’embaalebaale, n’avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka. |
|
| 10 |
|
| Asima ensalosalo ku njazi; n’amaaso ge galaba eby’omuwendo byonna. |
|
| 11 |
|
| Anoonya wansi mu migga, n’aggyayo ebintu ebyakwekebwa. |
|
| 12 |
|
| “Naye amagezi gasangibwa wa? Okutegeera kuva wa? |
|
| 13 |
|
| Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago; tegasangibwa mu nsi y’abalamu. |
|
| 14 |
|
| Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’ ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’ |
|
| 15 |
|
| Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi, wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza. |
|
| 16 |
|
| Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri, mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro. |
|
| 17 |
|
| Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana: so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo. |
|
| 18 |
|
| Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako; omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu. |
|
| 19 |
|
| Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana, tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna. |
|
| 20 |
|
| “Kale amagezi gava ludda wa? N’okutegeera kubeera ludda wa? |
|
| 21 |
|
| Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu, era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga. |
|
| 22 |
|
| Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti, ‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’ |
|
| 23 |
|
| Katonda ategeera ekkubo erigatuukako era ye yekka y’amanyi gye gabeera, |
|
| 24 |
|
| kubanga alaba enkomerero y’ensi era alaba ebintu byonna wansi w’eggulu. |
|
| 25 |
|
| Bwe yateekawo amaanyi g’empewo, n’apima n’amazzi, |
|
| 26 |
|
| bwe yateekera enkuba etteeka era n’ekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa, |
|
| 27 |
|
| olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira; n’agateekawo, n’agagezesa. |
|
| 28 |
|
| N’agamba omuntu nti, ‘Laba, okutya Mukama, ge magezi, n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ” |
|
|
|
|