|
| 1 |
|
| Mazima waliwo ekirombe omusimwa ffeeza, N'ekifo gye balongoseza zaabu. |
|
| 2 |
|
| Ekyuma bakisima mu ttaka, N'ekikomo bakisaanuusa okuva mu mayinja. |
|
| 3 |
|
| Abantu bagoba enzikiza nga bakoleeza attaala, Ne banoonya eyo mu ttaka wansi, Amayinja mu bunyomero, mu kkuzimu, ge banaasimayo. |
|
| 4 |
|
| Basima ne bakira ddala eyo ewala eteri bantu, Abantu gye batatambulira, Bakira ku miguwa, ne babeera eyo bokka. |
|
| 5 |
|
| Emmere erimwa ku nsi. Naye wansi w'ensi, wali ng'awali omuliro. |
|
| 6 |
|
| Enjazi zaayo mwe baggya amayinja Safiro, Ne mu nfuufu yaayo mulimu zaabu. |
|
| 7 |
|
| Ekkubo lyayo tewali nnyonyi eyigga erimanyi, Ne kamunye talirabanga. |
|
| 8 |
|
| Ensolo enkambwe teziririnnyangamu, So n'empologoma teriyitangamu. |
|
| 9 |
|
| Abantu baasa amayinja ag'embaalebaale, Bawuukuula ensozi okutuukira ddala ku ntobo zaazo. |
|
| 10 |
|
| Batema emikutu mu njazi, Ne balaba buli kintu eky'omuwendo ennyo. |
|
| 11 |
|
| Batangira emigga gireme okukulukuta, Ebyakwekebwa ne babiteeka awalaba. |
|
| 12 |
|
| Naye amagezi gasangwa wa? N'ekifo okutegeera we kubeera kiri ludda wa? |
|
| 13 |
|
| Omuntu tamanyi muwendo gwago, Tegasangibwa mu nsi y'abalamu. |
|
| 14 |
|
| Obuziba bugamba nti, N'ennyanja egamba nti, “Tegali we ndi.” |
|
| 15 |
|
| Tegafunika na zaabu, So topima ffeeza okugagula. |
|
| 16 |
|
| Tegayinzika kwenkanyankanyizibwa ne zaabu ow'e Ofiri, Wadde amayinja ag'omuwendo Onuku oba safiro. |
|
| 17 |
|
| Zaabu n'endabirwamu tebiyinza kugenkana. Tegayinza kuwaanyisibwa na kintu ekyakolebwa mu zaabu omulungi ennyo. |
|
| 18 |
|
| Omuwendo gwago gusingira ddala amayinja ga kolali n'amayinja ag'endabirwamu. Weewaawo, omuwendo gw'amagezi gusinga amayinja amatwakaavu. |
|
| 19 |
|
| Topazi eriva e Buwesiyopya teriigenkanenga, So tegenkanyankanyizibwenga ne zaabu ennungi. |
|
| 20 |
|
| Kale amagezi gava wa? N'ekifo okutegeera we kubeera kiri ludda wa? |
|
| 21 |
|
| Kubanga ebiramu byonna tebigalaba, Newakubadde ennyonyi ez'omu bbanga. |
|
| 22 |
|
| Okuzikirira n'Okufa bigamba nti: “Twawulira bye bagoogerako mu ŋŋambo. |
|
| 23 |
|
| Katonda yekka yamanyi gye gabeera, Era ye amanyi ekifo kyago. |
|
| 24 |
|
| Kubanga ye atunuulira ensi okutuuka ku nkomerero yaayo. Era alaba buli kintu ekiri wansi w'eggulu. |
|
| 25 |
|
| Yawa empewo obuzito bwayo, N'apima amazzi n'ekipima. |
|
| 26 |
|
| Bwe yateekera enkuba etteeka, N'ekkubo ery'okumyansa okw'okubwatuka. |
|
| 27 |
|
| Awo n'alaba amagezi, n'agalangirira. N'agakebera n'agakenneenyeza ddala. |
|
| 28 |
|
| N'agamba abantu nti: Okutya Mukama ge magezi, N'okuva mu kibi kwe kutegeera.” |
|
|
|
|