|
| 1 |
|
| Awo Yobu n'aleeta nate olugero lwe n'ayogera nti |
|
| 2 |
|
| Singa mbadde nga bwe nnali mu myezi egyayita, Nga bwe nnali mu nnaku Katonda ze yandabirirangamu; |
|
| 3 |
|
| Ettabaaza ye lwe yayakiranga omutwe gwange, N'omusana gwe gwe gwantambuzanga okuyita mu kizikiza; |
|
| 4 |
|
| Nga bwe nnali ennaku zange nga zengedde, Ekyama kya Katonda bwe kyabanga ku weema yange; |
|
| 5 |
|
| Omuyinza w'ebintu byonna bwe yali ng'akyali nange, N'abaana bange nga bakyanneetoolodde; |
|
| 6 |
|
| Ebigere byange bwe byanaazibwanga n'omuzigo, N'olwazi bwe lwanfuukira emigga egy'amafuta! |
|
| 7 |
|
| Bwe nnafulumanga ne ŋŋenda eri omulyango mu kibuga, Bwe nnategekanga entebe yange mu luguudo, |
|
| 8 |
|
| Abalenzi bandabanga ne beekweka, Abakadde ne bayimukanga ne bayimirira; |
|
| 9 |
|
| Abakungu ne balekanga okwogera, Ne bateeka omukono gwabwe kamwa kaabwe; |
|
| 10 |
|
| Eddoboozi ery'abakulu ne lisirika, Olulimi lwabwe ne lwegatta n'ekibuno ky'akamwa kaabwe. |
|
| 11 |
|
| Kubanga okutu bwe kwampuliranga ne kulyoka kunneebaza; Era eriiso bwe lyandabanga ne liba mujulirwa wange: |
|
| 12 |
|
| Kubanga nawonyanga omwavu eyakaaba, Era n'atalina kitaawe eyabulwa ow'okumuyamba. |
|
| 13 |
|
| Omukisa gwanjijira oyo gwe yansabira eyali ayagala okuzikirira: Ne nnyimbisa olw'essanyu omutima gwa nnamwandu. |
|
| 14 |
|
| Nayambala obutuukirivu ne bumbikkako: Obutalya nsonga bwange ne buba ng'omunagiro n'engule. |
|
| 15 |
|
| Nabanga amaaso eri omuzibe, Era nabanga ebigere eri awenyera. |
|
| 16 |
|
| Nabanga kitaabwe abeetaaga: Era nakeberanga ensonga y'oyo gwe ssaamanya. |
|
| 17 |
|
| Era namenyanga atali mutuukirivu oluba, Ne nsika omuyiggo ne nguggya mu mannyo ge, |
|
| 18 |
|
| Kale ne njogera nti Ndifiira mu kisu kyange, Era naayongeranga ennaku zange ng'omusenyu: |
|
| 19 |
|
| Emmizi gyange giranze eri amazzi, N'omusulo gubeera ku ttabi lyange ne gukeesa obudde: |
|
| 20 |
|
| Ekitiibwa kyange kiggya gye ndi, N'omutego gwange guzzibbwa buggya mu mukono gwange. |
|
| 21 |
|
| Nze abantu bampulirizanga ne balinda, Ne basirikira okuteesa kwange. |
|
| 22 |
|
| Nga ndeese ebigambo bo ne batayogera nate; Okwogera kwange ne kubagwako. |
|
| 23 |
|
| Era bannindirira nga bwe balindirira enkuba; Era bayasama nnyo akamwa kaabwe ng'abayasamira enkuba eya ttoggo. |
|
| 24 |
|
| Bwe nnabasekeranga ne batakkiriza; N'omusana gw'amaaso gange tebaagusuula. |
|
| 25 |
|
| Neerobozanga ekkubo lyabwe ne ntuula ng'omukulu, Ne mbeera nga kabaka mu ggye, Ng'omuntu akubagiza abakungubaga. |
|
|
|
|