|
| 1 |
|
| Awo Yobu n'ayongera okwogera, n'agamba nti: |
|
| 2 |
|
| “Singa mbadde nga bwe nabanga edda! Ne mba nga mu biseera biri, mwe nalabirirwanga Katonda! |
|
| 3 |
|
| Ettaala ye bwe yayakiranga awo ku mutwe gwange, okummulisiza mpite mu kizikiza! |
|
| 4 |
|
| Mu biseera ebyo nabanga bulungi, nga Katonda ye munnange, ataasa n'amaka gange. |
|
| 5 |
|
| Olwo Omuyinzawaabyonna yabeeranga wamu nange; n'abaana bange nga banneetoolodde. |
|
| 6 |
|
| Ng'amata nganaabya n'ebigere; nga n'olwazi lukulukuta omuzigo gwe bakamulirako, mu mizayiti gyange. |
|
| 7 |
|
| Bwe navangayo okujja mu kifo awakuŋŋaanirwa ku mulyango gw'ekibuga, ntereeze entebe yange mu luggya, |
|
| 8 |
|
| abavubuka bandabanga ne banviira. Abakadde ne basituka ne bayimirira; |
|
| 9 |
|
| Abakulembeze ne basirika, ne bakwata ne ku mumwa. |
|
| 10 |
|
| N'abakungu ne batanyega, wadde okubaayo awuuna! |
|
| 11 |
|
| “Abaawuliranga bye njogera n'abandabanga, nga bankulisa. Nga banjogerako birungi byereere. |
|
| 12 |
|
| Kubanga nawonyanga omwavu ansaba obuyambi ng'akaaba, n'eyafiirwako kitaawe, atalina amukwata ku mukono. |
|
| 13 |
|
| Be nawonya okufa bansabiranga. Bannamwandu bye nabakolera byabasanyusa ne bayimba. |
|
| 14 |
|
| Bulijjo nakolanga bituufu, nga bye binneetooloola. Obwenkanya bwange ne buba ng'ekyambalo kyange, n'ekitambaala ky'oku mutwe. |
|
| 15 |
|
| Nakulemberanga bamuzibe, ne mpaniriranga abalema. |
|
| 16 |
|
| Nafuuka kitaawe w'abaavu. Nekkaanyanga ensonga z'abo be simanyi. |
|
| 17 |
|
| Namenyanga emba z'aboonoonyi Ne mbaggya omuyiggo mu mannyo |
|
| 18 |
|
| “Nalowooza nti ndifiira mu kisu kyange, nga mpezezza ennaku ze mpangadde. |
|
| 19 |
|
| Nali ng'omuti ogulandizza emirandira awali amazzi; ng'omusulo gugwa ku matabi okumala ekiro kyonna. |
|
| 20 |
|
| Naweebwanga ekitiibwa bulijjo n'amaanyi gange gaddanga buto. |
|
| 21 |
|
| Abantu baalindanga kasirise ne bawuliriza mbabuulirire. |
|
| 22 |
|
| Bye njogedde bwe byaggwanga, nga tewali kye bongerako. Ebigambo byange ne bibannyikira. |
|
| 23 |
|
| Bannindiriranga ng'abalindirira enkuba. Ne kiba ng'abalimi bwe baaniriza ekire ky'enkuba ya ttoggo. |
|
| 24 |
|
| Be nasekerangako nga tebayinza na kukkiriza! Akaseko kange ku maaso, kaabazzangamu amaanyi. |
|
| 25 |
|
| Nabeeranga mukulu mu bo ne mbasalirangawo eky'okukola. Nababeerangamu nga kabaka mu ggye lye; era ng'omuntu akubagiza abakungubaga. |
|
|
|
|