|
| 1 |
|
| Yobu n’ayongera okwogera nti, |
|
| 2 |
|
| “Nga nneegomba emyezi egyayita, ennaku Katonda mwe yali nga y’andabirira, |
|
| 3 |
|
| ettaala ye bwe yayakiranga omutwe gwange, n’ekitangaala kye bwe kyanjakiranga nga ntambulira mu kizikiza. |
|
| 4 |
|
| Mu biro we nabeerera ow’amaanyi, omukwano gwa Katonda omuyitirivu nga gukuuma amaka gange, |
|
| 5 |
|
| Ayinzabyonna bwe yali ng’akyali nange n’abaana bange nga bakyanneetoolodde, |
|
| 6 |
|
| n’ekkubo lyange nga lisiigiddwa omuzigo n’olwazi nga lunfukirira omugga ogw’amafuta. |
|
| 7 |
|
| “Bwe nalaganga ku mulyango gw’ekibuga ne ntuula ku ntebe mu kifo we baakubiranga enkiiko, |
|
| 8 |
|
| abavubuka abato bandabanga ne badda ebbali, abakadde ne basituka ne bayimirira; |
|
| 9 |
|
| abakungu ab’oku ntikko ne balekeraawo okwogera, ne bakwata ne ku mimwa; |
|
| 10 |
|
| ab’ebitiibwa ne balekeraawo okwogera, ennimi zaabwe ne zeesibira waggulu mu kamwa. |
|
| 11 |
|
| Buli kutu okwampuliranga nga kwesiima, era n’abo abandabanga nga basiima |
|
| 12 |
|
| kubanga nawonyanga abaavu abaakaabiranga obuyambi, n’abatalina bakitaabwe abatalina abayamba. |
|
| 13 |
|
| Omusajja ng’afa, y’ansabira omukisa, ne ndeetera omutima gwa nnamwandu okuyimba. |
|
| 14 |
|
| Ne nnyambala obutuukirivu ng’engoye zange, obwenkanya bwe bwali omunagiro gwange era ekitambala kye neesiba ku mutwe. |
|
| 15 |
|
| Nnali maaso g’abamuzibe era ebigere by’abalema. |
|
| 16 |
|
| Nnali kitaawe w’abanaku, ne nneyama okuwolereza besimanyiiko. |
|
| 17 |
|
| Namenyanga amannyo g’abakozi b’ebibi, ne nziggya mu kamwa kaabwe, be baali bakutte. |
|
| 18 |
|
| “Nalowooza nti, ‘Ndifiira mu nnyumba yange nga mpezezza ennaku zange nga nnyingi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja. |
|
| 19 |
|
| Omulandira gwange gulituuka mu mazzi, era n’omusulo gulibeera ku ttabi lyange okukeesa obudde. |
|
| 20 |
|
| Ekitiibwa kyange tekirikaddiwa mu nze, n’omutego gwange ogw’akasaale gusigale nga tegukaddiye mu mukono gwange.’ |
|
| 21 |
|
| “Abantu beesunganga okumpuliriza, nga balindirira mu kasirise amagezi gange. |
|
| 22 |
|
| Bwe namalanga okwogera, nga tewaba addayo kwogera, ebigambo byange byagwanga mpola mpola mu matu gaabwe. |
|
| 23 |
|
| Bannindiriranga ng’enkuba ne banywa ebigambo byange ng’enkuba eya ttoggo. |
|
| 24 |
|
| Bwe nabamwenyeranga nga tebakikkiriza; ekitangaala ky’oku maaso gange kyali kya muwendo gye bali. |
|
| 25 |
|
| Nabasalirangawo eky’okukola, ne ntuula nga kabaka n’amaggye ge; nnali ng’abo ababeesabeesa abakungubazi.” |
|
|
|
|