|
| 1 |
|
| Awo Yobu n'alyoka ayasama akamwa n'akolimira olunaku lwe: |
|
| 2 |
|
| Yobu n'addamu n'ayogera nti |
|
| 3 |
|
| Olunaku lukolimirwe kwe nnazaalirwa, N'ekiro ekyayogera nti Omwana ow'obulenzi ali mu lubuto. |
|
| 4 |
|
| Olunaku olwo lube ekizikiza; Katonda aleme okulutunuulira ng'ayima waggulu, So n'omusana guleme okulwakira. |
|
| 5 |
|
| Ekizikiza n'ekisiikirize eky'okufa biruyite olw'abyo; Ekire kirutuuleko: Byonna ebiddugaza obudde birutiise. |
|
| 6 |
|
| Ekiro ekyo ekizikiza ekikutte kikinyage: So luleme okusanyukira mu nnaku ez'omu mwaka; Luleme okutuuka mu muwendo gw'emyezi. |
|
| 7 |
|
| Laba, ekiro ekyo kibe kigumba; Luleme okujjirwa eddoboozi ery'essanyu. |
|
| 8 |
|
| Abo balukolimire abakolimira obudde, Abeeteeseteese okusaggula goonya. |
|
| 9 |
|
| Emmunyeenye ez'ekiro kyalwo zibeeko ekizikiza: Lunoonye omusana, naye lugubulwe; So terutunuulira bikowe bya nkya: |
|
| 10 |
|
| Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange. So terwakisa maaso gange obuyinike. |
|
| 11 |
|
| Kiki ekyandobera okufa okuva mu lubuto? Kiki ekyandobera okuta obulamu bwe nnava mu byenda? |
|
| 12 |
|
| Amaviivi ganzikiririza ki? Oba amabeere, okugayonka? |
|
| 13 |
|
| Kubanga kaakano nandigalamidde ne nsirika; Nandyebase; bwe ntyo bwe nnandiwummudde: |
|
| 14 |
|
| Wamu ne bassekabaka n'abakungu b'ensi, Abeezimbira mu matongo; |
|
| 15 |
|
| Oba wamu n'abalangira abaalina ezaabu, Abajjuzanga ennyumba zaabwe effeeza: |
|
| 16 |
|
| Oba ng'omwana omusowole akwekebwa sandibaddewo; Ng'abaana abawere abatalabanga ku musana n'akatono. |
|
| 17 |
|
| Eyo ababi bakoma okuteganya; Era eyo abakoowu gye bawummulira. |
|
| 18 |
|
| Eyo abasibe gye bessiza awamu; Tebawulira ddoboozi lya mukoza. |
|
| 19 |
|
| Omuto n'omukulu bali eyo; N'omuddu aba wa ddembe eri mukama we. |
|
| 20 |
|
| Alaba obuyinike aweerwa ki omusana? N'obulamu abuweerwa ki oyo alumiddwa omwoyo; |
|
| 21 |
|
| Abeegomba okufa, naye ne kutajja; Ne bakusima okusinga obugagga obukwekeddwa; |
|
| 22 |
|
| Abasanyuka ennyo nnyini, Ne bajaguza, bwe bayinza okulaba entaana? |
|
| 23 |
|
| Omuntu akwekeddwa ekkubo lye aweerwa ki omusana, Era Katonda gw'akomedde olukomera? |
|
| 24 |
|
| Kubanga okusinda kwange kujja nga sinnalya, N'okuwuluguma kwange kufukibwa ng'amazzi. |
|
| 25 |
|
| Kubanga kye ntidde kinjijako, N'ekyo kye nkankanira kijja gye ndi. |
|
| 26 |
|
| Sessa so sitereera so siwummula; Naye ennaku zijja. |
|
|
|
|