|
| 1 |
|
| Ebyo bwe byaggwa, Yobu n'atandika okwogera, n'akolimira olunaku lwe yazaalirwako. |
|
| 2 |
|
| Yobu n'agamba nti: |
|
| 3 |
|
| “Olunaku kwe nazaalirwako luzikirire, n'ekiro ekyagamba nti omwana ow'obulenzi ali mu lubuto. |
|
| 4 |
|
| Lube lwa kizikiza olunaku olwo; Katonda mu ggulu alwerabire, n'enjuba ereme okwakirako. |
|
| 5 |
|
| Ekisiikirize n'ekizikiza ekikutte biruyite olwabyo. Ekire kirubikke. Lutiisibwe ebyo byonna ebiddugaza obudde. |
|
| 6 |
|
| Ekiro ekyo kivumbagirwe ekizikiza ekikutte. Kiggyibwe mu nnaku z'omwaka; kireme na kubalirwa mu mwezi. |
|
| 7 |
|
| Ddala ekiro ekyo kibe kya bugumba; kireme kuwulirwamu basanyuka. |
|
| 8 |
|
| Kikolimirwe abo, abakolimira obudde; era abasobola okusaggula goonya. |
|
| 9 |
|
| Emmunyeenye z'amakya gaakyo zireme okulabikako. Ekitangaala kye kisuubira, kibule, kireme kulaba ku mmambya. |
|
| 10 |
|
| Kubanga mmange tekyamufuula mugumba, ne kireka ndabe ennaku eno endaaza! |
|
| 11 |
|
| Lwaki saafiirawo nga nzaalwa, olwava mu nda ya mmange ne nzisa ogusembayo? |
|
| 12 |
|
| Lwaki nalererwa ku maviivi? N'amabeere lwaki gannyonsa? |
|
| 13 |
|
| Kubanga bwe nandifudde nandisirise; nandyebase, nandiwummudde |
|
| 14 |
|
| wamu ne bassekabaka n'abafuzi b'ensi, abeezimbira obuggya embiri mu matongo. |
|
| 15 |
|
| Nandyebase wamu n'abalangira abajjuza ennyumba zaabwe zaabu ne ffeeza. |
|
| 16 |
|
| Singa naggyibwawo ng'omusowole, oba okuziikibwa ng'omwana azaalibwa ng'afudde, atalaba ku kitangaala. |
|
| 17 |
|
| Eyo mu ntaana ababi, bakoma okuteganya abantu, era eyo, abalungi gye bawummulira. |
|
| 18 |
|
| Eyo n'abasibe bassa ku mukka; ne batawulira abatulugunya. |
|
| 19 |
|
| Omuto n'omukulu bali eyo; n'omuddu tafugibwa mukama we. |
|
| 20 |
|
| “Abantu abali mu nnaku balabira ki ekitangaala? N'abo ababonaabona babeerera ki abalamu? |
|
| 21 |
|
| Beegomba okufa, ne kubeesamba; ne bakunoonya okukira abawuukuula obugagga obukwekeddwa. |
|
| 22 |
|
| Basanyuka nnyo nnyini ne bajaguza bwe bafa, ne bateekebwa mu ntaana. |
|
| 23 |
|
| Omuntu akwekeddwa ekkubo lye Katonda gw'akolako olukomera? |
|
| 24 |
|
| Kubanga okusinda ye mmere yange; okusindogoma okwange tekukoma. |
|
| 25 |
|
| Kye ntya kye kinzijira, n'ekinkanga kye kingwira. |
|
| 26 |
|
| Siweerako, sirina mirembe, siwummula, Mitawaana gye gijja!” |
|
|
|
|