|
| 1 |
|
| Oluvannyuma lw’ebyo, Yobu n’ayasamya akamwa ke n’akolimira olunaku kwe yazaalirwa. |
|
| 2 |
|
| N’agamba nti, |
|
| 3 |
|
| “Olunaku kwe nazaalirwa luzikirire, n’ekiro lwe kyalangirirwa nti omwana mulenzi. |
|
| 4 |
|
| Olunaku olwo lubuutikirwe ekizikiza, omusana guleme okulwakako, Katonda aleme okulufaako. |
|
| 5 |
|
| Ekizikiza n’ekisiikirize eky’okufa birujjule, ekire kirutuuleko, ekizikiza kikankanye ekitangaala kyalwo. |
|
| 6 |
|
| Ekizikiza ekikutte be zigizigi kirunyage, luleme okubalirwa awamu n’ennaku eziri mu mwaka, wadde okuyingizibwa mu ezo eziri mu mwezi. |
|
| 7 |
|
| Yee, lubeere lugumba, waleme okuba eddoboozi lyonna ery’essanyu eririwulirwako. |
|
| 8 |
|
| Abo abakolimira ennyanja n’ennaku balukolimire, n’abo abamanyi okuzuukusa agasolo galukwata mu nnyanja, balukolimire. |
|
| 9 |
|
| Emmunyeenye ez’omu matulutulu gaalwo zibe ekizikiza, lulindirire ekitangaala kirubulwe, luleme okulaba ebikowe by’oku nkya. |
|
| 10 |
|
| Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange, nneme okulaba obuyinike. |
|
| 11 |
|
| “Lwaki saafa nga nzalibwa, oba ne nfa nga nva mu lubuto lwa mmange? |
|
| 12 |
|
| Lwaki amaviivi ganzikiriza okugatuulako era n’amabeere okugayonka? |
|
| 13 |
|
| Kaakano nandibadde ngalamidde nga neesirikidde, nandibadde neebase nga neewummulidde, |
|
| 14 |
|
| wamu ne bakabaka n’abakungu ab’ensi, abezimbira embiri kaakano amatongo, |
|
| 15 |
|
| oba n’abalangira abaalina zaabu, abajjuzanga ffeeza mu nnyumba zaabwe. |
|
| 16 |
|
| Oba lwaki saaziikibwa ng’omwana azaaliddwa ng’afudde, atalabye ku kitangaala? |
|
| 17 |
|
| Eyo ababi gye batatawaanyizibwa, era n’abakooye gye bawummulira. |
|
| 18 |
|
| Abasibe gye bawummulira awamu, gye batawulirira kiragiro ky’oyo abaduumira. |
|
| 19 |
|
| Abakopi n’abakungu gye babeera; abaddu gye batatuntuzibwa bakama baabwe. |
|
| 20 |
|
| “Lwaki omuyinike aweebwa ekitangaala, ne kimulisiza oyo alumwa mu mwoyo, |
|
| 21 |
|
| era lwaki yeegomba okufa naye ne kutajja, n’akunoonya okusinga obugagga obuziikiddwa, |
|
| 22 |
|
| abajaguza ekisukkiridde, ne basanyuka ng’atuuse ku ntaana? |
|
| 23 |
|
| Lwaki okuwa ekitangaala oyo, atayinza kulaba kkubo, Katonda gw’akomedde? |
|
| 24 |
|
| Kubanga nkaaba mu kifo ky’okulya, n’okusinda kwange kufukumuka ng’amazzi. |
|
| 25 |
|
| Ekintu kye nantiiranga ddala era kye nakyawa kye kyantukako. |
|
| 26 |
|
| Siwummudde wadde okusiriikirira wadde okuba n’emirembe, wabula buzibu bwereere bwe bunzijidde.” |
|
|
|
|