|
| 1 |
|
| Awo nga bakyali mukasirikiriro ako ak'enaku, Yobu nga ali n'emikwano gye, Yobu n'atandika okwogera, n'akolimira olunaku lwe yazaalirwako. |
|
| 2 |
|
| Yobu n'agamba nti, |
|
| 3 |
|
| “Olunaku luzikirire lwe nnazaalirwako, N'ekiro ekyagamba nti, ‘Omwana ow'obulenzi ali mu lubuto.’ |
|
| 4 |
|
| Olunaku olwo lube ekizikiza; Katonda mu ggulu aleme okulujjukira, Ne njuba ereme okwakirako. |
|
| 5 |
|
| Ekisiikirize n'ekizikiza ekikutte biruyite olwabyo. Ekire kirubutikire, Byonna ebiddugaza obudde birutiise. |
|
| 6 |
|
| Ekiro ekyo ekizikiza ekikutte kikibutikire, Era kisangulwe mu nnaku ez'omu mwaka; Kireme kubalibwa mu myezi. |
|
| 7 |
|
| Ddala, ekiro ekyo kibe kigumba; Kireme kubeeramu kusanyuka kwonna. |
|
| 8 |
|
| Kikolimirwe abo abakolimira obudde, Abeeteeseteese okusaggula goonya. |
|
| 9 |
|
| Emmunyeenye ez'amakya gaakyo zibe kizikiza: Kisubire ekitangaala, naye kibule, Era kireme okulaba ku mmambya. |
|
| 10 |
|
| Kubanga tekyafuula mmange mugumba, Ne kindetera okulaba obuyinike. |
|
| 11 |
|
| Lwaki saafiira mu lubuto? Lwaki ssaafa nga nnakazaalibwa? |
|
| 12 |
|
| Mmange yanderera ki ku maviivi? Lwaki yannyonsa amabeere? |
|
| 13 |
|
| Kubanga bwe nnandifudde nnandisirise, Nandyebase; bwe ntyo bwe nnandiwummudde: |
|
| 14 |
|
| Nga bassekabaka n'abakungu b'ensi, Abeezimbira embiri mu matongo; |
|
| 15 |
|
| Oba nandyebase wamu n'abalangira abajjuza, Ennyumba zaabwe zaabu ne ffeeza, |
|
| 16 |
|
| Oba lwaki ssagibwawo ng'omwana omusowole, Oba ng'omwana azaalibwa ng'afudde atalaba ku kitangaala n'akatono? |
|
| 17 |
|
| Eyo mu ntaana ababi bakoma okuteganya abantu, Era eyo abakoowu gye bawummulira. |
|
| 18 |
|
| Eyo abasibe gye bafunira emirembe, Tebawulira ddoboozi lya mukozesa. |
|
| 19 |
|
| Omuto n'omukulu bali eyo; N'omuddu tafugibwa mukama we. |
|
| 20 |
|
| Alaba obuyinike aweerwa ki ekitangaala? Ali mu buyinike abeerera ki omulamu? |
|
| 21 |
|
| Waliwo abeegomba okufa, naye ne kutajja; Ne bakunoonya nga abasima obugagga obukwekeddwa. |
|
| 22 |
|
| Basanyuka ennyo nnyini bwe bafa, Bajaguza, bwe bateekebwa mu ntaana. |
|
| 23 |
|
| Omuntu akwekeddwa ekkubo lye aweerwa ki omusana, Era Katonda amukolerako ki olukomera? |
|
| 24 |
|
| Kubanga okusinda ye linga emmere yange, N'okuwuluguma kwange kulinga amazzi agafukibwa. |
|
| 25 |
|
| Kubanga kye ntya kye kinzijira, N'ekyo kye nkankanira kijja gye ndi. |
|
| 26 |
|
| Sirina mirembe, era siwummula, Wabula obuyinike bwe bunzijira.” |
|
|
|
|