|
| 1 |
|
| Naye kaakano be nsinga obukulu bansekerera, Bakitaabwe nabanyooma okubateeka wamu n'embwa ez'ekisibo kyange. |
|
| 2 |
|
| Weewaawo, amaanyi ag'emikono gyabwe gandingasizza ki? Abantu abaweddemu obuvubuka, |
|
| 3 |
|
| Bakoozimbye olw'okwetaaga n'enjala; Bameketa ettaka ekkalu mu kizikiza eky'okuzika n'okwonooneka. |
|
| 4 |
|
| Banoga enkunga awali ebisaka; N'enkolo ez'omwoloola ye mmere yaabwe. |
|
| 5 |
|
| Bagobebwa wakati mu bantu; Babalangira nga bwe balangira omubbi. |
|
| 6 |
|
| Kibagwanira okubeera mu njatika ez'omu biwonvu, Mu bunnya obw'omu ttaka n'obw'omu njazi. |
|
| 7 |
|
| Balirira mu bisaka, Wansi w'emyennyango we bakuŋŋaanira. |
|
| 8 |
|
| Baana ba basirusiru, weewaawo, baana ba basajja abatalina linnya; Baakubibwa emiggo ne bagobebwa mu nsi. |
|
| 9 |
|
| Kale kaakano nze nfuuse oluyimba lwabwe, Weewaawo, ndi kigambo kya buwemu gye bali. |
|
| 10 |
|
| Bantamwa, banneesamba, Tebaleka kumpandira malusu mu maaso. |
|
| 11 |
|
| Kubanga asumuludde omugwa gwe n'ambonyaabonya, Era basudde olukoba olugoba mu maaso gange. |
|
| 12 |
|
| Ku mukono gwange ogwa ddyo kugolokokera abalalulalu; Basindiikiriza ebigere byange, Era batuuma ku nze amakubo gaabwe ag'okuzikirira. |
|
| 13 |
|
| Boonoona ekkubo lyange, Bongera ku nnaku ze ndabye, Abantu ababulwa ow'okubayamba. |
|
| 14 |
|
| Bajja nga bayita mu kituli ekiwagule ekigazi: Wakati mu matongo bangwako. |
|
| 15 |
|
| Ebitiisa bikyuse okungwako, Bayigganya ekitiibwa kyange ng'empewo; N'omukisa gwange guweddewo ng'ekire. |
|
| 16 |
|
| Era kaakano emmeeme yange efukiddwa munda yange; Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zinkutte. |
|
| 17 |
|
| Ekiro amagumba gange gafumitibwa mu nze, N'obubalagaze obunnuma tebuwummula. |
|
| 18 |
|
| Olw'amaanyi amangi ag'endwadde yange ekyambalo kyange kyonoonese: Ensibira ddala ng'ekitogi ky'ekizibawo kyange. |
|
| 19 |
|
| Ansudde mu bitosi, Era nfuuse ng'enfuufu n'evvu. |
|
| 20 |
|
| Nkukaabira so tonziramu: Nayimirira, n'ontunuulira. |
|
| 21 |
|
| Okyuse okuba omukambwe gye ndi: Olw'amaanyi ag'omukono gwo onjigganya. |
|
| 22 |
|
| Onsitulira awali empewo n'ozinneebagazaako; Era onsaanuusizza mu kibuyaga, |
|
| 23 |
|
| Kubanga mmanyi ng'olintuusa mu kufa, N'eri ennyumba eyateekerwawo abalamu bonna. |
|
| 24 |
|
| Mazima taagololere mukono gwe ku kifuavu ky'ebyagwa; Newakubadde nga bibeera mu kuzikirira kwe, omuntu ayinza okulira olw'ebyo. |
|
| 25 |
|
| Saamukaabira amaziga oyo eyali mu nnaku? Emmeeme yange teyanakuwalira oyo eyeetaaga? |
|
| 26 |
|
| Bwe nnasuubira ebirungi, ebibi ne biryoka bijja; Era bwe nnalindirira omusana, ekizikiza ne kijja. |
|
| 27 |
|
| Ebyenda byange byesera ne bitawummula: Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zintuuseeko. |
|
| 28 |
|
| Ntambula nga mpuubaala awatali njuba: Nnyimirira mu kkuŋŋaaniro ne nkuba enduulu bannyambe. |
|
| 29 |
|
| Ndi muganda w'ebibe, Ne bamaaya ndi munnaabwe. |
|
| 30 |
|
| Eddiba ery'omubiri gwange liddugadde, linsasambukako, N'amagumba gange gookeddwa n'ebbugumu. |
|
| 31 |
|
| Ennanga yange kyevudde ekyuka okuwuubaala, N'omulere gwange gufuuse ddoboozi ly'abo abakaaba amaziga. |
|
|
|
|