|
| 1 |
|
| “Naye kaakano be nsinga obukulu be bansekerera. Bakitaabwe nabanyoomanga ne sibakkiriza kubeera wamu na mbwa zikuuma ggana lyange. |
|
| 2 |
|
| Nandibafunyeemu mugaso ki abantu abatakyalimu maanyi? |
|
| 3 |
|
| Olw'obwavu n'enjala ebaluma balumaaluma ebikalu ekiro mu kizikiza mu ddungu. |
|
| 4 |
|
| Banoga ku bisaka ebikoola by'ebimera. N'emirandira gy'akeeyeeyo ye mmere yaabwe. |
|
| 5 |
|
| Bagobebwa mu bantu, ne bakubirwa enduulu ng'ababbi. |
|
| 6 |
|
| Bagwanira kubeeranga mu mifulejje ne mu miwaatwa; mu binnya ne mu mpuku ez'omu njazi. |
|
| 7 |
|
| Bakaabira mu bisaka ng'ebisolo, Wansi w'emyennyango we bakuŋŋaanira. |
|
| 8 |
|
| Batabani ba basirusiru, baana ba batamanyiddwa. Baakubibwa emiggo ne bagobebwa mu ggwanga. |
|
| 9 |
|
| Kaakano mbafuukidde luyimba, ndi ŋŋombo yaabwe ya kugereesa. |
|
| 10 |
|
| Banneetamiddwa, banneesamba. Amaaso gange tebagataliza kugawandira malusu. |
|
| 11 |
|
| Kubanga Katonda andese ngalo nsa n'ammala amaanyi, Nze we mbeera kye baagala kye beekolera. |
|
| 12 |
|
| Ku ludda lwange olwaddyo esituseeyo abalalulalu: batega emitego we nninnya. Bategeka kulumba bantemule. |
|
| 13 |
|
| Baziba ekkubo lyange basobole okummalawo, nga tebeetaaze muyambi. |
|
| 14 |
|
| Bajja nga bayita mu kituli ekigazi; mu matongo wakati, ne bakulukuta ng'engezi. |
|
| 15 |
|
| Nzijirwa ebintiisa. Ekitiibwa kyange kigenze, ng'ekitwaliddwa embuyaga. Obuwonero bwange buyise nga kire. |
|
| 16 |
|
| “Kaakano mpweddemu obulamu Ekiseera ky'obuyinike kintuuse. |
|
| 17 |
|
| Ekiro amagumba gammeketa Obulumi bwe nnina tebusalako. |
|
| 18 |
|
| Bunkwata n'amaanyi ne bunfunyaafunya olususu. Ne bummiima ng'obulago bw'ekyambalo kyange. |
|
| 19 |
|
| Katonda ankubye mu bitosi; Nfuuse nga nfuufu na vvu. |
|
| 20 |
|
| Nkukaabirira ayi Katonda, n'otonziramu. Nnyimirira, n'ontunuulira butunuulizi. |
|
| 21 |
|
| Onfuukidde omukambwe, n'onjigganya n'amaanyi go gonna. |
|
| 22 |
|
| Onsitula n'onneebagajjira ku mbuyaga. Onjuuyayuuyiza eno n'eri mu kibuyaga akunta. |
|
| 23 |
|
| Ddala mmanyi ontwala magombe mu kifo erigenda bonna abalamu. |
|
| 24 |
|
| Lwaki olumba omuntu azikirira atakyalina ky'ayinza kukola, wabula okusaba obuyambi? |
|
| 25 |
|
| Ssaakaabira wamu amaziga n'abali mu nnaku yaabwe? Ssaalumirwa abo abali mu bwetaavu? |
|
| 26 |
|
| Naye bwe nasuubira ebirungi ebibi ate bye byajja. Bwe nalindirira ekitangaala, ekizikiza kye kyajja. |
|
| 27 |
|
| Omutima guncankalanye, tegulina bwe guweera. Ekiseera ky'okubonaabona kintuuseeko. |
|
| 28 |
|
| Ntambula nnakuwadde, ne sifunayo kikubagizo. Nneesimba we bakuŋŋaanidde, ne nsaba nti bannyambe. |
|
| 29 |
|
| Ndi muganda wa bibe era mukwano gwa bimmaaya. |
|
| 30 |
|
| Olususu lunzirugadde, n'omubiri gumbunye ebbugumu. |
|
| 31 |
|
| Ennyimba ze nkuba ku nnanga, kati za bakungubazi. Eddoboozi ly'endere yange ndifuuyira bakaaba maziga. |
|
|
|
|