|
| 1 |
|
| “Baabo kati bansekerera, abato ku nze, bakitaabwe be sagwanyizanga kuteeka wamu na mbwa za ggana lyange. |
|
| 2 |
|
| Amaanyi g'emikono gyabwe gyaŋŋanyula ki, kati abo abatakyalimu mbavu. |
|
| 3 |
|
| Nga bakabiriddwa olw'obwavu n'enjala, baabunganga mu ddungu ekiro, mu nkoola ne mu malungu, |
|
| 4 |
|
| nga banoga ebikoola by'omunnyo okuva mu bisaka; emmere yaabwe nga gy'emirandira gy'oluvuuvu. |
|
| 5 |
|
| Baagobebwanga mu bantu, nga babakubira enduulu ng'ababbi. |
|
| 6 |
|
| Baasulanga mu biwonvu by'emigga ebikalu, ne mu mpuku mu ttaka ne mu mpampagama z'enjazi. |
|
| 7 |
|
| Baawologgomeranga eyo mu bisaka, nga beezinze wamu mu matovu. |
|
| 8 |
|
| Abantu bano abasiru, abatalina na mannya, abaagobwa mu nsi. |
|
| 9 |
|
| “Kati wuuno banjeeya mu nnyimba, nfuuse ekintu eky'okunyumyako. |
|
| 10 |
|
| Banneenyinyala, ne banneewala, tebatya na kumpandira malusu mu maaso. |
|
| 11 |
|
| Kati nga Katonda asumuludde omutego gwange n'ambonyaabonya, bakasuse eddobo mu kamwa kange. |
|
| 12 |
|
| Ku ddyo wasituseewo eggye, bategera ebigere byange omutego; banneetoolozza ebikomera banzikirize. |
|
| 13 |
|
| Bakutulakutula mu makubo gange; basobola okunsaanyaawo awatali n'abayambye. |
|
| 14 |
|
| Bajja nga bayita mu awabomole mu bisenge, bayiringita nga bayita mu bifulukwa. |
|
| 15 |
|
| Entiisa embuutikidde nzenna, ekitiibwa kyange kigobeddwa eri ng'empewo ky'efuuye, obulamu bwange bubuzeewo ng'ekire. |
|
| 16 |
|
| “Kale nno obulamu bwange bugenda, ennaku ez'okubonaabona zintuukiridde. |
|
| 17 |
|
| Ekiro kinfumita okuyita mu magumba, obulumi bummeketa obutaweerako. |
|
| 18 |
|
| Mu maanyi ge akwata ekyambalo kyange; ammyumyula ng'obulago bw'ekyambalo kyange. |
|
| 19 |
|
| Ansudde mu bitoomi, kati nfaanana nga vvu na nfuufu. |
|
| 20 |
|
| “Nkuwajagira naye ggwe toddamu; nnyimirira, naye ggwe tonfaako. |
|
| 21 |
|
| Onkyukidde na bukambwe; onjigganya n'omukono gwo ogw'amaanyi. |
|
| 22 |
|
| Onsitudde n'ongobera mu mbuyaga; ommerengulidde mu kikuŋŋunta. |
|
| 23 |
|
| Mmanyi ojja kuntuusa ku kufa, mu kifo ekyategekerwa buli mulamu. |
|
| 24 |
|
| “Kituufu tewaali asuulira mukono ali mu kifulukwa, bw'aba awanjaga mu buyinike bwe. |
|
| 25 |
|
| Saakaabira ng'oyo ali mu kabi? Sakabirirwanga mu mwoyo gwange olw'omwavu? |
|
| 26 |
|
| Naye bwe nasuubira ebirungi, bibi bye byajja; nalindirira ekitangaala, nzikiza ye yajja. |
|
| 27 |
|
| Munda munneefumba awatali kuweera; ennaku ez'okubonaabona zinzijiridde. |
|
| 28 |
|
| Nzirugadde amaaso, naye si lwa musana; nnyimirira mu kibiina ne mpanjaga. |
|
| 29 |
|
| Nfuuse muganda wa bibe; mukwano gwa biwuugulu. |
|
| 30 |
|
| Olususu lunzirugadde ne lubambuka; amagumba gange gookya olw'omusujja. |
|
| 31 |
|
| Ennanga yange efuuse ya kukungubaga, n'endere yange, maloboozi g'abakaaba.” |
|
|
: |
| 1 | | 2 | | 3 | | 4 | | 5 | | 6 | | 7 | | 8 | | 9 | | 10 | | 11 | | 12 | | 13 | | 14 | | 15 | | 16 | | 17 | | 18 | | 19 | | 20 | | 21 | | 22 | | 23 | | 24 | | 25 | | 26 | | 27 | | 28 | | 29 | | 30 | | 31 | 1
1
1 |
|
|---|
|
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/job/030.mp3
42
30