|
| 1 |
|
| “Naye kaakano bansekerera; abantu abansinga obuto, bakitaabwe be nnandibadde nteeka wamu n’embwa ezikuuma endiga zange. |
|
| 2 |
|
| Amaanyi g’emikono gyabwe gaali gangasa ki? Abantu abaali baweddemu amaanyi ag’obuvubuka bwabwe, |
|
| 3 |
|
| abakoozimbye abaali mu bwetaavu era abayala, bameketa ettaka ekkalu mu nsi enjereere mu budde obw’ekiro. |
|
| 4 |
|
| Banoga ebiragala ebiwoomerera ng’omunnyo mu bisaka, enkolokolo ez’omwoloola y’emmere yaabwe. |
|
| 5 |
|
| Baagobebwa bave mu bantu bannaabwe, ne babaleekaanira gy’obeera nti, baali babbi. |
|
| 6 |
|
| Baawalirizibwa okubeera mu migga egyakalira, mu njazi ne mu binnya wansi mu ttaka. |
|
| 7 |
|
| Baakaabira mu bisaka ng’ensolo ne beekweka mu bikoola by’emiti. |
|
| 8 |
|
| Ezzadde ly’abasirusiru abatalina bwe bayitibwa, baagobebwa mu nsi. |
|
| 9 |
|
| Naye kaakano abaana baabwe bansekerera nga bannyimba; nfuuse ekyenyinyalwa gye bali, |
|
| 10 |
|
| abatanjagala abanneesalako, banguwa okunfujjira amalusu mu maaso. |
|
| 11 |
|
| Kaakano Katonda nga bw’atagguludde akasaale kange, ammazeemu amaanyi; beeyisizza nga bwe balaba mu maaso gange. |
|
| 12 |
|
| Abantu bano bannumba ku mukono gwange ogwa ddyo; bategera ebigere byange emitego, ne baziba amakubo banzikirize. |
|
| 13 |
|
| Banzingiza ne banzikiriza, nga tewali n’omu abayambye. |
|
| 14 |
|
| Banzingiza ng’abayita mu kituli ekigazi, bayingira nga bayita mu muwaatwa. |
|
| 15 |
|
| Nnumbiddwa ebitiisa eby’amaanyi; ekitiibwa kyange kifuumuuse ng’ekifuuyiddwa empewo, era n’obukuumi bwange ne bubulawo ng’ekire.” |
|
| 16 |
|
| “Era kaakano obulamu bwange buseebengerera buggwaawo, ennaku ez’okubonaabona zinzijjidde. |
|
| 17 |
|
| Ekiro kifumita amagumba gange era obulumi bwe nnina tebukoma. |
|
| 18 |
|
| Mu maanyi ge amangi Katonda abeera ng’olugoye lwe nneebikka, n’ensibibwa ng’ekitogi ky’ekyambalo kyange. |
|
| 19 |
|
| Ansuula mu bitosi, ne nfuuka ng’enfuufu n’evvu. |
|
| 20 |
|
| “Nkukaabirira nti, Ayi Katonda, naye toddamu; nnyimirira, naye ontunuulira butunuulizi. |
|
| 21 |
|
| Onkyukira n’obusungu; onnumba n’omukono gwo ogw’amaanyi. |
|
| 22 |
|
| Onsitula mu bbanga n’ongobesa empewo, n’onziza eno n’eri mu muyaga. |
|
| 23 |
|
| Mmanyi nga olintuusa mu kufa, mu kifo kye wateekerawo abalamu bonna. |
|
| 24 |
|
| “Ddala tewali ayamba muntu anyigirizibwa ng’akaaba mu kunyigirizibwa kwe. |
|
| 25 |
|
| Saakaabira abo abaali mu buzibu? Emmeeme yange teyalumirirwa abaavu? |
|
| 26 |
|
| Naye bwe nanoonya obulungi, ekibi kye kyajja; bwe nanoonya ekitangaala, ekizikiza kye kyajja. |
|
| 27 |
|
| Olubuto lwange lutokota, terusirika; ennaku ez’okubonaabona kwange zinjolekedde. |
|
| 28 |
|
| Nzenna ŋŋenda nzirugala naye si lwa kwokebwa musana; nnyimirira mu lukuŋŋaana, ne nsaba obuyambi. |
|
| 29 |
|
| Nfuuse muganda w’ebibe, munne w’ebiwuugulu. |
|
| 30 |
|
| Olususu lwange luddugadde, era lususumbuka; n’omubiri gwange gwokerera. |
|
| 31 |
|
| Ettendo lyange lifuuseemu kukaaba n’akalere kange ne kavaamu eddoboozi ery’ebiwoobe.” |
|
|
: |
| 1 | | 2 | | 3 | | 4 | | 5 | | 6 | | 7 | | 8 | | 9 | | 10 | | 11 | | 12 | | 13 | | 14 | | 15 | | 16 | | 17 | | 18 | | 19 | | 20 | | 21 | | 22 | | 23 | | 24 | | 25 | | 26 | | 27 | | 28 | | 29 | | 30 | | 31 | 1
1
1 |
|
|---|
|
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/job/030.mp3
42
30