|
| 1 |
|
| “Nakola endagaano n’amaaso gange; obutatunuulira muwala n’amaaso ag’obukaba. |
|
| 2 |
|
| Kiki Katonda kye yandinsasudde okuva waggulu, omugabo ogwandivudde eri oyo Ayinzabyonna ali waggulu? |
|
| 3 |
|
| Emitawaana tegijjira abo abatali batukuvu, n’okulaba ennaku ne kujjira abakola eby’obujeemu? |
|
| 4 |
|
| Amakubo gange gonna tagalaba, era tamanyi ntambula yange? |
|
| 5 |
|
| Obanga natambulira mu bulimba era nga n’ekigere kyange kyayanguyiriza okukola obukuusa; |
|
| 6 |
|
| leka mpimibwe ku minzaani ya Katonda amanye obutuukirivu bwange. |
|
| 7 |
|
| Obanga ekigere kyange kyali kikyamye okuva mu kkubo, n’omutima gwange ne gugoberera amaaso gange, engalo zange ne zibaako ebbala lyonna; |
|
| 8 |
|
| kale nsige, omulala abirye, weewaawo ebirime byange bikuulibwe. |
|
| 9 |
|
| Obanga omutima gwange gwali gusendeddwasendeddwa omukazi, oba ne mmuteegera ku mulyango gwa muliraanwa, |
|
| 10 |
|
| kale omukazi wange ase eŋŋaano y’omusajja omulala, n’abasajja abalala beebake naye. |
|
| 11 |
|
| Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve, ekibi ekiŋŋwanira okubonerezebwa. |
|
| 12 |
|
| Ogwo gwandibadde muliro ogwokya okutuusa mu kuzikirira, ogwandyokezza ebyange byonna bye nasimba.” |
|
| 13 |
|
| “Obanga nnali nnyoomye ensonga y’omuddu wange oba omuddu wange omukazi, bwe banninaako ensonga, |
|
| 14 |
|
| kale ndikola ntya Katonda bw’alinnyimukiramu? Era bw’alimbuuza, ndimuddamu ki? |
|
| 15 |
|
| Eyantonda mu lubuto nabo si ye yabatonda? Ffenna si ye yatukola mu mbuto za bannyaffe? |
|
| 16 |
|
| “Obanga nnamma omwavu ekintu kyonna, era obanga nakaabya nnamwandu; |
|
| 17 |
|
| obanga nnali ndidde akamere kange nzekka atalina kitaawe n’atalyako, |
|
| 18 |
|
| kubanga okuva mu buto bwange namulera nga kitaawe, era okuva mu lubuto lwa mmange nayamba nnamwandu. |
|
| 19 |
|
| Obanga nnali ndabye omuntu yenna ng’afa olw’okubulwa ebyambalo, oba ali mu kwetaaga atalina kye yeebikka; |
|
| 20 |
|
| mpozzi omutima gwe, gwe gutansiima, olw’okumubugumya n’ebyoya by’endiga zange; |
|
| 21 |
|
| obanga nayimusa omukono gwange eri abatalina bakitaabwe, kubanga mmanyi nti, mmanyiganye n’ab’obuyinza, |
|
| 22 |
|
| kale omukono gwange gukutuke ku kibegabega kyange, leka gukutukireyo mu kinywa we guyungira. |
|
| 23 |
|
| Olw’okutya okuzikirizibwa Katonda n’olw’obukulu bwe, nnali sisobola kukola bintu ng’ebyo. |
|
| 24 |
|
| “Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabu oba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’ |
|
| 25 |
|
| obanga neeyagala olw’okuba n’obugagga obungi, oba olw’okuba emikono gyange gy’ali ginfunyisizza bingi; |
|
| 26 |
|
| obanga nnali ntunuulidde enjuba, oba omwezi nga byaka mu kitiibwa, |
|
| 27 |
|
| omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama, ne mbinywegera nga mbisaamu ekitiibwa, |
|
| 28 |
|
| era n’ekyo kyandibadde kibi ekiŋŋwanyiza okusalirwa omusango olw’obutaba mwesigwa eri Katonda ali waggulu.” |
|
| 29 |
|
| “Obanga nasanyuka ng’omulabe wange afunye emitawaana oba ne njaguza olw’ebizibu ebyamutuukako, |
|
| 30 |
|
| sakkiriza kamwa kange kwonoona nga nkolimira obulamu bwe. |
|
| 31 |
|
| Abantu b’omu nnyumba yange bwe baba tebabuuzanga nti, ‘Ani atakkuse nnyama?’ |
|
| 32 |
|
| Tewali mutambuze yasula ku kkubo, kubanga oluggi lwange lwali luggule eri buli muyise. |
|
| 33 |
|
| Obanga nakweka ekibi kyange ng’abantu bwe bakola, nga nkweka obutali butuukirivu bwange mu mutima gwange, |
|
| 34 |
|
| olw’okutya ekibiina, nga ntya okuswala mu kika, ne nsirika ne ntya n’okufuluma ebweru, |
|
| 35 |
|
| so nga waliwo ayinza okumpulira, leka nteekeko omukono ku mpoza yange, leka Ayinzabyonna anziremu; n’oyo ampawaabira abiteeke mu buwandiike. |
|
| 36 |
|
| “Ddala ddala nandibyambadde ku kibegabega kyange, nandibyambadde ku mutwe ng’engule. |
|
| 37 |
|
| Nandimunnyonnyodde buli kifo we nalinnya ekigere, nandimusemberedde ng’omulangira. |
|
| 38 |
|
| “Singa ettaka lyange linkaabirira, n’ebinnya byalyo bye nsimye ne bitotobala n’amaziga; |
|
| 39 |
|
| obanga ndiddemu ebibala awatali kusasula, era ne ndeetera bannannyini lyo okufa, |
|
| 40 |
|
| leka omwennyango gumere mu kifo ky’eŋŋaano, n’omuddo oguwunya gumere mu kifo kya sayiri.” Ebigambo bya Yobu byakoma wano. |
|
|
|
|