|
| 1 |
|
| Awo abasajja abo abasatu ne baleka okuddamu Yobu, kubanga yaii mutuukirivu mu maasoge ye. |
|
| 2 |
|
| Awo obusungu bwa Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow'omu kika kya Laamu ne bulyoka bubuubuuka eri Yobu, kubanga yeeyita mntuukirivu so si Katonda. |
|
| 3 |
|
| Era obusungu bwe ne bubuubuuka n'eri mikwano gye bonsatule kubanga tebaalaba kya kuddamu, naye ne basalira Yobu okumusinga. |
|
| 4 |
|
| Era Eriku yali alindiridde okwogera ne Yobu, kubanga waaliwo abaamusinga obukulu. |
|
| 5 |
|
| Awo Eriku bwe yalaba nga mu kamwa k'abasajja abo abasatu temuli kya kuddamu, obusungu bwe ne bubuubuuka. |
|
| 6 |
|
| Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n'addamu n'ayogera nti Nze ndi muto, nammwe muli bakadde nnyo; Kyennavudde nzibiikiriza ne ssaŋŋanga kubalaga kye ndowooza. |
|
| 7 |
|
| Njogedde nti Ennaku ze zandyogedde, Olufulube lw'emyaka lwandiyigirizza amagezi. |
|
| 8 |
|
| Naye waliwo omwoyo mu bantu, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gubawa okutegeera. |
|
| 9 |
|
| Abakulu si be bagezi, So n'abakadde si be bategeera emisango. |
|
| 10 |
|
| Kyenvudde njogera nti Mumpulire; Era nange naalaga kye ndowooza. |
|
| 11 |
|
| Laba, nnindiridde ebigambo byammwe, Mpulirizza ensonga zammwe, Nga munoonya bye muba mwogera. |
|
| 12 |
|
| Weewaawo, nteze okutu eri mmwe, Era, laba, nga tewali asinze Yobu, Newakubadde azzeemu ebigambo bye ku mmwe. |
|
| 13 |
|
| Mwekuume muleme okwogera nti Tulabye amagezi; Mpozzi Katonda ayinza okumuwangula, si bantu: |
|
| 14 |
|
| Kubanga ebigambo bye tabyolekezza nze; So ssiimuddemu na kwogera kwammwe. |
|
| 15 |
|
| Basamaaliridde, tebakyayanukula: Tebalina kigambo kya kwogera. |
|
| 16 |
|
| Nange naalindirira, kubanga teboogera, Kubanga bayimirira buyimirizi nga tebakyayanukula? |
|
| 17 |
|
| Era nange naayanukula ebyange, Era nange naalaga kye ndowooza. |
|
| 18 |
|
| Kubanga njijudde ebigambo; Omwoyo gwange oguli mu nze gumpaliriza. |
|
| 19 |
|
| Laba, olubuto lwange luliŋŋanga omwenge ogutaliiko we gufulumira; Ng'amaliba amaggya lwagala okwabika. |
|
| 20 |
|
| Naayogera ndyoke mpeereweere; Naayasama emimwa gyange ne nziramu. |
|
| 21 |
|
| Nkwegayiridde, nneme okusosola mu bantu eri omuntu yenna; So ssiiwe muntu yenna mannya ganyumiikiriza. |
|
| 22 |
|
| Kubanga simanyi kuwa mannya ganyumiikiriza; Omutonzi wange yandinziyeewo mangu. |
|
|
|
|