|
| 1 |
|
| Awo abasajja abo abasatu ne balekeraawo okwogera ne Yobu, kubanga yali yeeraba nga mutuukirivu. |
|
| 2 |
|
| Naye Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow’omu kika kya Laamu, n’anyiigira nnyo Yobu olw’okweraba ng’atalina musango, naye n’anenya Katonda. |
|
| 3 |
|
| Yanyiigira ne mikwano gye abasatu, kubanga baalemwa okulumiriza Yobu kyokka nga baali bamusingisizza omusango. |
|
| 4 |
|
| Eriku yali alinzeeko okwogera ne Yobu kubanga banne baali bakulu okumusinga. |
|
| 5 |
|
| Naye bwe yalaba ng’abasajja bano abasatu tebakyalina kirala kya kwogera, n’anyiiga. |
|
| 6 |
|
| Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n’addamu n’ayogera nti, “Nze ndi muto mu myaka, mmwe muli bakulu, kyenavudde ntya okubabuulira kye ndowooza. |
|
| 7 |
|
| Nalowoozezza nti, Emyaka gye gisaanye okwogera, n’emyaka emingi gye gisaanye okuyigiriza amagezi. |
|
| 8 |
|
| Kyokka omwoyo oguli mu muntu, nga gwe mukka gw’oyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera. |
|
| 9 |
|
| Abakadde si be bokka abalina amagezi, wadde abakulu bokka okuba nga be bategeera ekituufu. |
|
| 10 |
|
| “Kyenva ŋŋamba nti, Mumpulirize, nange mbabuulire kye mmanyi. |
|
| 11 |
|
| Nassizzaayo omwoyo nga mwogera, nawulirizza ensonga ze mwawadde nga munoonya eby’okwogera. |
|
| 12 |
|
| Nabawulirizza bulungi. Kyokka tewali n’omu ku mmwe yalaze Yobu bw’ali omukyamu; tewali n’omu ku mmwe eyayanukudde ebigambo bye. |
|
| 13 |
|
| Mwegendereze temugamba nti, ‘Tusanze omuntu ow’amagezi; muleke Katonda amuwangule so si bantu.’ |
|
| 14 |
|
| Kyokka Yobu ebigambo bye tabyolekezza nze, era sijja kumuddamu na bigambo byammwe. |
|
| 15 |
|
| “Basobeddwa, tebalina kya kwogera, ebigambo bibaweddeko. |
|
| 16 |
|
| Kaakano nsirike busirisi, nga bayimiridde buyimirizi, nga tebalina kye boogera? |
|
| 17 |
|
| Nange nnina eky’okwogera, era nnaayogera kye mmanyi, |
|
| 18 |
|
| kubanga nzijjudde ebigambo, era omwoyo ogwange gumpaliriza okwogera. |
|
| 19 |
|
| Munda mu nze omutima guli nga wayini, asaanikiddwa mu ccupa, ng’amaliba amaggya agalindiridde okwabika. |
|
| 20 |
|
| Nteekwa okwogera, nsobole okufuna eddembe, nteekwa okwasamya akamwa kange mbeeko kye njogera. |
|
| 21 |
|
| Sijja kubaako gwe nkwatirwa nsonyi, era sijja na kuwaana muntu yenna. |
|
| 22 |
|
| Kubanga singa mpaaniriza, Omutonzi wange yandyanguye okunziggyawo.” |
|
|
|
|