|
| 1 |
|
| Awo abasajja abo abasatu ne balekerawo okuddamu Yobu, kubanga yabalaga nti yali talina kibi kye yali akoze. |
|
| 2 |
|
| Awo obusungu bwa Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow'omu kika kya Laamu ne bulyoka bubuubuuka eri Yobu, kubanga yeeyita mutuukirivu n'anenya Katonda. |
|
| 3 |
|
| Era obusungu bwe ne bubuubuuka n'eri mikwano gya Yobu abasatu kubanga baabulwa kye baddamu Yobu, naye ne bamusalira busalizi musango. |
|
| 4 |
|
| Era Eriku yali alindirira okwogera ne Yobu, kubanga waaliwo abali baamusinga obukulu. |
|
| 5 |
|
| Awo Eriku bwe yalaba nga abasajja abo abasatu tebakyalina bigambo bya kwanukula Yobu, obusungu bwe ne bubuubuuka. |
|
| 6 |
|
| Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n'addamu n'agamba nti, “Nze ndi muto, nammwe muli bakadde nnyo, Kyennavudde ntya ne ssaŋŋanga kubalaga kye ndowooza. |
|
| 7 |
|
| Ne ŋŋamba nti, ‘Abakadde ka boogere, Kubanga emyaka gyabwe giraga amagezi.’ |
|
| 8 |
|
| Naye omwoyo wa Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, Ajja ku bantu n'abawa okutegeera |
|
| 9 |
|
| Okukula si kwe kugeziwala, Abakulu si be bagezi, So n'okukaddiwa si be bategeera ekituufu. |
|
| 10 |
|
| Kyenva ŋŋamba nti; Mumpulirize, Nange mbategeeze kye ndowooza. |
|
| 11 |
|
| Mbawuliriza nga mwogera, Mpulire oba nga munayogera ebya makulu, Naye nga ebigambo munoonya binoonye. |
|
| 12 |
|
| Mbawuliriza bulungi, Sirabye n'omu avuganya Yobu mu bigambo, Wadde asobodde okumwanukula. |
|
| 13 |
|
| Mwekuume muleme kwewaana nti amagezi mugazudde. Katonda ye ayinza okumuwangula, si bantu. |
|
| 14 |
|
| Ebigambo bye tabyolekezza nze. Nange ssiimuddemu na bigambo ebiringa ebyo ebyammwe. |
|
| 15 |
|
| Basobeddwa, babuliddwa eby'okuddamu, Tebakyalina kya kwogera. |
|
| 16 |
|
| Kale nange nsirike busirisi nga nabo bwe basirise? Tebakyalina kye baanukula? |
|
| 17 |
|
| Naye nze nja kubaako kye nziramu. Nnabategeeza kye ndowooza. |
|
| 18 |
|
| Eby'okwogera nnina bingi. Mpulira muli ekimpika njogere. |
|
| 19 |
|
| Omutima gwange gulinga omwenge omusu omusaanikire, Ogwagala okwabya mwe guteekeddwa. |
|
| 20 |
|
| Nina okwogera ndyoke mpeere. Nteekwa okubaako kye njogera. |
|
| 21 |
|
| Sijja kwe kubiira ku ludda lwa muntu yenna. Era sijja kubaako gwe mpaana. |
|
| 22 |
|
| Kubanga simanyi kuwaaniriza, Sikulwa ng'Omutonzi wange anziggyawo mangu.” |
|
|
|
|