|
| 1 |
|
| Naye, Yobu, nkwegayiridde, wulira okwogera kwange, Era tega okutu kwo eri ebigambo byange byonna. |
|
| 2 |
|
| Laba nno, njasamye akamwa kange, Olulimi lwange lwogedde mu kamwa kange. |
|
| 3 |
|
| Ebigambo byange binaayatula obugolokofu bw'omutima gwange; N'emimwa gyange bye gimanyi bye ginaayogera awatali bukuusa. |
|
| 4 |
|
| Omwoyo gwa Katonda gwe gwankola, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gwe gumpa obulamu. |
|
| 5 |
|
| Oba, oyinza, nziraamu: Liraanya ebigambo byo mu maaso gange, oyimirire wakati. |
|
| 6 |
|
| Laba, ndi awali Katonda era nga ggwe bw'oli: Era nange nabumbibwa okuva mu ttaka. |
|
| 7 |
|
| Laba, entiisa yange teekukange, So n'okunyigiriza kwange tekuukuzitoowerere. |
|
| 8 |
|
| Mazima oyogedde nze nga mpulira, Nange mpulidde eddoboozi ly'ebigambo byo ng'oyogera nti |
|
| 9 |
|
| Ndi mulongoofu nga ssiriiko kusobya; Ssiriiko musango, so mu nze temuli butali butuukirivu: |
|
| 10 |
|
| Laba, anziyako ensonga, Ampita mulabe we; |
|
| 11 |
|
| Ateeka ebigere byange mu nvuba, Alabirira amakubo gange gonna. |
|
| 12 |
|
| Laba, naakuddamu, mu ekyo tolina nsonga; Kubanga Katonda asinga omuntu obukulu. |
|
| 13 |
|
| Kiki ekikuwakanya naye? Kubanga tabalirira muwendo gwa bigambo bye byonna. |
|
| 14 |
|
| Kubanga Katonda ayogera omulundi gumu, Weewaawo, emirundi ebiri, abantu newakubadde nga tebassaayo mwoyo. |
|
| 15 |
|
| Mu kirooto, mu kwolesebwa okw'omu kiro, Otulo otungi bwe tukwata abantu, Nga babongoota ku kitanda; |
|
| 16 |
|
| Awo n'alyoka aggula amatu g'abantu, N'ateeka akabonero ku kuyigirizibwa kwabwe, |
|
| 17 |
|
| Aggye abantu mu kuteesa kwabwe, Era akweke abantu amalala; |
|
| 18 |
|
| Aziyiza emmeeme ye okukka mu bunnya, N'obulamu bwe buleme okufa n'ekitala. |
|
| 19 |
|
| N'okulumwa kumukangavvula ku kitanda kye, N'okulwana okutamala mu magumba ge: |
|
| 20 |
|
| Obulamu bwe n'okutamwa ne butamwa emmere, N'emmeeme ye ekyokulya ekiyonjo. |
|
| 21 |
|
| Omubiri gwe gumalibwawo n'okuyinzika ne gutayinzika kulabibwa; N'amagumba ge agaali gatalabika ne gakukunala. |
|
| 22 |
|
| Weewaawo, emmeeme ye esemberera obunnya, N'obulamu bwe busemberera abazikiriza. |
|
| 23 |
|
| Oba waliwo wamu naye malayika, Omutegeeza, omu mu lukumi, Okwolesa abantu ebibagwanira; |
|
| 24 |
|
| Awo n'amukwatirwa ekisa n'ayogera nti Muwonye aleme okukka mu bunnya, Ndabye ekinunulo. |
|
| 25 |
|
| Omubiri gwe guliba muggya okusinga ogw'omwana omuto; Adda mu nnaku z'obuto bwe: |
|
| 26 |
|
| Asaba Katonda, era amukwatirwa ekisa; N'okulaba alaba amaaso ge n'essanyu: Era awa nate omuntu obutuukirivu bwe. |
|
| 27 |
|
| Ayimbira mu maaso g'abantu n'ayogera nti Nnyonoonye ne nnyoola ekyo ekyali ekirungi, So ssiriiko kye nnagasibwa: |
|
| 28 |
|
| Anunudde emmeeme yange obutakka mu bunnya. N'obulamu bwange bunaatunuuliranga omusana. |
|
| 29 |
|
| Laba, ebyo byonna Katonda abikola, Emirundi ebiri, weewaawo, n'esatu eri omuntu, |
|
| 30 |
|
| Okukomyawo emmeeme ye mu bunnya, Ayakirwe omusana ogw'abalamu. |
|
| 31 |
|
| Weetegereze nnyo, ai Yobu, ompulire: Sirika, nange naayogera. |
|
| 32 |
|
| Oba nga olina eky'okwogera nziraamu: Yogera, kubanga njagala okukufuula omutuukirivu. |
|
| 33 |
|
| Oba nga si weewaawo, mpulira: Sirika, nange naakuyigiriza amagezi. |
|
|
|
|