|
| 1 |
|
| “Kati nno Yobu, wulira bye ŋŋenda okwogera. Wuliriza ebigambo byange byonna. |
|
| 2 |
|
| Kale ka ntandike okwogera, nfulumye muli ekimpujja. |
|
| 3 |
|
| Ebigambo byange bye biraga nti ddala ndi mwesimbu. |
|
| 4 |
|
| Mwoyo wa Katonda yantonda. Omukka gw'Omuyinzawaabyonna gwampa obulamu. |
|
| 5 |
|
| Oba oyinza, nziraamu. Tereeza bulungi ensonga, oyimirire mu maaso gange. |
|
| 6 |
|
| Nze naawe mu maaso ga Katonda tuli kimu: Ffembi twabumbibwa mu ttaka. |
|
| 7 |
|
| N'olwekyo tobaako ky'ontyamu. Sijja kukuzitoowerera. |
|
| 8 |
|
| Mazima oyogedde mpulira. Eddoboozi lyo livuze mu gano amatu gange nti: |
|
| 9 |
|
| ‘Sirina musango, tewali kikyamu kye nakola. Siriiko kye nvunaanibwa, era sirina kibi. |
|
| 10 |
|
| Naye Katonda afuna ebyekwaso, n'anteeka mu ssa ly'omulabe. |
|
| 11 |
|
| Asiba ebigere byange mu nvuba, alingiriza bye nkola byonna.’ |
|
| 12 |
|
| Naye ka nkubuulire ggwe Yobu, nti mu kino oli mukyamu. Katonda asukkulumye nnyo ku bantu. |
|
| 13 |
|
| Lwaki omwemulugunyiza ng'ogamba nti: ‘Bye mmugamba nga tanziramu?’ |
|
| 14 |
|
| Kubanga Katonda ayogera mu ngeri eno oba eri, wadde ng'abantu tebeeteerayo mwoyo. |
|
| 15 |
|
| Abantu ekiro mu tulo otungi balina bye balabira mu birooto nga babongootera ku bitanda. |
|
| 16 |
|
| Awo Katonda w'aggulira amatu g'abantu. N'abakakasa by'abayigiriza, |
|
| 17 |
|
| alyoke abaggye ku bikolwa ebibi, era abaziyize okuba abeepansi. |
|
| 18 |
|
| Abawonya okukka emagombe, n'okuzikirizibwa olumbe. |
|
| 19 |
|
| Era okulwalira ku kitanda, n'okulumwa mu magumba, bikangavvula omuntu. |
|
| 20 |
|
| Obulamu bwe butamwa by'alya. N'ebyamuwoomeranga, n'atabyegomba. |
|
| 21 |
|
| Aggweebwako omubiri n'akogga. Amagumba ge agataalabikanga ne gakukunala. |
|
| 22 |
|
| Ddala asemberera omugo gw'entaana, n'abula kata okuzikirira. |
|
| 23 |
|
| “Naye bw'afuna omu ku bamalayika ba Katonda enkumi n'enkumi abayamba abantu okubalaga ekituufu, |
|
| 24 |
|
| n'amukwatirwa ekisa, n'agamba Katonda nti: ‘Muwonye aleme kukka magombe. Mmulabiddeyo omutango. |
|
| 25 |
|
| Omubiri gwe gube kawerette ng'ogw'omwana omuto. Era yennyini adde buvubuka,’ |
|
| 26 |
|
| olwo omuntu oyo asinza Katonda, Katonda n'amukwatirwa ekisa, n'ajja mu maaso ge nga musanyufu, kubanga amuwonyezza okufa. |
|
| 27 |
|
| Ayimbira mu maaso g'abantu ng'agamba nti: ‘Nayonoona, ne nkola ebitatuuse. Naye ne sibonerezebwa nga bwe nsaanidde. |
|
| 28 |
|
| Annunudde ne sikka magombe nja kwongera okuba omulamu.’ |
|
| 29 |
|
| Mazima ebyo byonna Katonda abikolera abantu bulijjo |
|
| 30 |
|
| okubawonya amagombe, n'abawa essanyu olw'okuba abalamu. |
|
| 31 |
|
| “Kaakano nno Yobu, wuliriza bye ŋŋamba. Sirika ondeke njogere. |
|
| 32 |
|
| Naye oba olinayo ky'ogamba, kyogere mpulire. Yogera, kubanga njagala okukakasa nti tolina musango. |
|
| 33 |
|
| Naye oba tokirina, sirika owulire bye ŋŋamba. Nkuyigirize eby'amagezi.” |
|
|
|
|