|
| 1 |
|
| “Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange: ssaayo omwoyo ku byonna bye njogera. |
|
| 2 |
|
| Laba nnaatera okwasamya akamwa kange, ebigambo byange bindi ku lulimi. |
|
| 3 |
|
| Ebigambo byange biva mu mutima omulongoofu; olulimi lwange, mu bwesimbu, lwogera bye mmanyi. |
|
| 4 |
|
| Omwoyo wa Katonda ye yankola, era omukka gw’oyo Ayinzabyonna gumpa obulamu. |
|
| 5 |
|
| Onnyanukule nno bw’oba osobola, teekateeka ebigambo byo onjolekere. |
|
| 6 |
|
| Laba, nange ndi ggwe mu maaso ga Katonda. Nange nava mu bbumba. |
|
| 7 |
|
| Tobaako ky’otya, sijja kukunyigiriza. |
|
| 8 |
|
| Ddala ddala oyogedde mpulira, ebigambo byennyini mbiwulidde ng’ogamba nti, |
|
| 9 |
|
| Ndi mulongoofu sirina kibi, siriiko musango so mu nze temuli butali butuukirivu. |
|
| 10 |
|
| Kyokka Katonda anteekako omusango, anfudde omulabe we. |
|
| 11 |
|
| Asiba ebigere byange mu nvuba, antwala okuba omulabe we. |
|
| 12 |
|
| “Naye leka nkubuulire, mu kino toli mutuufu. Katonda asinga omuntu. |
|
| 13 |
|
| Lwaki omwemulugunyiza nti, taddamu bigambo bya muntu yenna? |
|
| 14 |
|
| Kubanga Katonda ayogerera mu ngeri emu, n’awalala n’ayogerera mu ngeri endala, wadde ng’omuntu tassaayo mwoyo. |
|
| 15 |
|
| Mu kirooto mu kwolesebwa ekiro ng’otulo tungi tukutte abantu nga beebase ku bitanda byabwe, |
|
| 16 |
|
| aggula amatu g’abantu, n’abalabula n’ebyekango, |
|
| 17 |
|
| alyoke akyuse omuntu okumuggya mu bikolwa ebibi n’amalala, |
|
| 18 |
|
| aziyize emmeeme ye okukka mu bunnya, n’obulamu bwe buleme okuzikirira n’ekitala. |
|
| 19 |
|
| “Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye, n’alumwa olutatadde mu magumba ge, |
|
| 20 |
|
| obulamu bwe ne bwetamira ddala emmere, emmeeme ye n’ekyayira ddala ebyassava. |
|
| 21 |
|
| Omubiri gwe gugwako ku magumba, n’amagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese, |
|
| 22 |
|
| emmeeme ye n’esembera kumpi n’obunnya; obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa. |
|
| 23 |
|
| Singa wabaawo malayika ku ludda lwe, amuwolereza, omu ku lukumi, okubuulira omuntu ekigwanidde; |
|
| 24 |
|
| yandimukwatiddwa ekisa n’amugamba nti, ‘Muwonye aleme kusuulibwa magombe, mmusasulidde omutango,’ |
|
| 25 |
|
| omubiri gwe guzzibwa buggya ng’ogw’omwana omuwere, era guddayo ne gubeera nga bwe gwali mu nnaku ze ez’obuvubuka. |
|
| 26 |
|
| Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa. Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu, Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu. |
|
| 27 |
|
| Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti, Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi, naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde. |
|
| 28 |
|
| Yanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya; kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala. |
|
| 29 |
|
| “Bw’atyo Katonda bw’akola omuntu emirundi ebiri oba esatu, |
|
| 30 |
|
| okuzza emmeeme ye ng’agiggya emagombe, ekitangaala eky’obulamu kimwakire. |
|
| 31 |
|
| “Yobu, weetegereze nnyo, ompulirize; siriikirira nkubuulire. |
|
| 32 |
|
| Bw’oba ng’olina eky’okwogera kyonna, nziraamu; yogera kubanga njagala wejjeerere. |
|
| 33 |
|
| Bwe kitaba kityo, mpuliriza; sirika nange nnaakuyigiriza amagezi.” |
|
|
|
|